Amawulire

Kaihura ali ku minzaani

Ali Mivule

October 30th, 2014

No comments

kaihura

Ssabapoliisi w’eggwanga  Gen Kale Kaihura atuuse mu palamenti okukakasibwa ku kifo kino.

Pulezidenti Museveni yayongera Kaihura ekisanja ekirala kyamyaka 4 nga era kati ababaka abatuula ku kakiiko akakakasa abalondeddwa pulezidenti bali mu kumusoya bibuuzo nga bakulembeddwamu sipiika Rebecca Kadaga.

Omulundi ogwasemba Kayihura okulabikako maaso g’akakiiko kano gwali mwaka gwa 2011 okukakasibwa ku Kisanja ekyaweddeko .

Singa akakasibwa , Kayihura ajja kuba ku kisanja kyakuna nga ssabapoliisi w’eggwanga.