Amawulire

Besigye ssiwakuddamu kwesimbawo

Ali Mivule

November 11th, 2013

No comments

Eyaliko Ssenkagale wa FDC Col Dr. Kiiza Besigye  ategeezezza nga bw’atali mwetegefu kuddamu kwesimbawo kubwa pulezidenti  mu mwaka 2016, singa amateeka agafuga okulonda tegakyuukamu. Kinajjukirwa nti Besigye  yaakegeza ku ntebe y’obukulembeze kaakano enfunda 3 namba, wabula ng’akubwa kyabugazi, newankubade nga abadde addukira mu kooti okuwakanya […]

Okubba piki- asibiddwa emyaka 18

Ali Mivule

November 11th, 2013

No comments

Kooti  enkulu eriko omusajja owe myaka 30  gw’ekalize emyaka 18, nga ono emulanga kubba bodaboda. Godwin Kanyaanya  owe Namuwongo  alabiseeko mu maaso g’omulamuzi Elizabeth Alividza ,akakasizza nti yabba piki ya  Simon Kalaharo. Omusango guno kigambibwa ni yaguzza ng’ennaku z’omwezi 15 , omwezi gw’okubiri mu mwak […]

Aba USAFI empooza ebalemye

Ali Mivule

November 11th, 2013

No comments

Abasuubuzi abakolera mu katale ka Usafi empooza ya buli mwezi ebazitoweredde nga abamu bagaala kwabuulira katale kano. Abasinga ku bakolera mu katale kano beebasuubuzi abali ku nguudo wabula nga kati ebintu bibasobodde olw’empooza egaanye nga ate abaguzi ba lubatu mu katale kano. Abasuubuzi bano basasula […]

Obutimba bujja

Ali Mivule

November 11th, 2013

No comments

Ministry y’ebyobulamu ekakasizza nga abantu b’omu masekkati g’eggwanga bwebali ab’okufuna obutimba bw’ensiri ku bwerere nga omwezi guno tegunaggwako. Omwogezi wa ministry eno  Rukia Nakamatte agamba disitulikiti ez’okuganyulwa mu kino kuliko  Luwero Masaka, Mpigi and Rakai nendala nga ate disitulikiti  okuli kampala ne wakiso zakuweebwa obutimba […]

Siteegi za Bodaboda za mwaka gujja

Ali Mivule

November 11th, 2013

No comments

Akulira abakozi mu kampala,  Jeniffer Musisi ategezezza nga okulamba siteegi za bodaboda bwekugenda okukolebwa omwaka ogujja. Ekitongole kya KCCA kyakukwatagana n’ebitongole ebikola ku by’okwerinda, saako n’abakiikirira abavuzi ba bodaboda okumaliriza enteekateka eno okwetoolola ekibuga.  Oluvanyuma bakutandika kawefube w’okubunyisa zi kabuuti  eri abavuzi bano, ebikoofira by’okumutwe […]

Abasuubuzi bakonkomadde

Ali Mivule

November 11th, 2013

No comments

Ebikumi n’ebikumi byabasubuzi bakyakonkomalidde ku nsalo ya Uganda ne Sudan olw’enkuba efudemba obutasalako. Enguudo okuli oluva e   Atyak – Nimule terukyayitikamu nga n’emmotoka zikwamye olw’okusalwako amazzi. Okusinziira ku sabawandiisi w’ekibiina ekigatta, abavuzi ba zi baasi abakolera e South Sudan  Willy Katende, abantu batandise okwonoona mu mazzi […]

Ebigezo bya Siniya y’omukaaga bitandise

Ali Mivule

November 11th, 2013

No comments

Abayizi ba siniya ey’omukaaga abasoba mu mitwalo 11  olwaleero a batandise ebigezo byaabwe eby’akamalirizo mu masomero agasoba mu 1000. Bano batandise n’ekigezo ky’ebyenfuna ekya Economics paper 1 ate olweggulo bakole paper 2. Sentebe w’ekitongole ky’ebyebigezo mu ggwanga ekya Uganda National exnationas board Fagil Mande agamba […]

Okubaka- She cranes yesozze enkambi

Ali Mivule

November 11th, 2013

No comments

Team y’abakyaala ey’okubaka eya SHE Cranes eyitiddwa okutandika okutendekebwa olunaku lwa leero nga tenagenda mu ggwanga lya Singapore ku nkomerero y’omwezi guno. Team eno erimu abazanyi 18 era nga bagenda kwetaba mu kikopo ky’amawanga omukaaga  eky’omuzanyo gw’okubaka. Uganda eggulawo n’eggwanga lya America nga 1st omwezi […]

Abatujju bandirumba Uganda-Poliisi

Ali Mivule

November 8th, 2013

No comments

Poliisi ezzeemu okulabula bannayuganda ku batujju Senkaggale wa poliisi, Gen Kale Kaihura agamba nti afunye amawulire nti abatujju bagaala kulumba Garden city oba Nakumatt mu kampala. Kaihura agambye nti bakyagenda mu maaso n’okwetegereza amawulire gano kyokka era n’asaba abantu okubeera abegendereza ennyo N’ab’ekibiina ky’amawanga amagatte […]

Akabenje kasse bana

Ali Mivule

November 8th, 2013

No comments

Abantu bana beebafiiridde mu kabenje akagudde e Kakira ku luguudo oluva e Jinja okudda e Iganga. Akabenje kano kabaddewo enkya ya leero nga kavudde taxi no. UAT 875K etomeraganye ne ki Fuso ekibadde kitisse seminti Aduumira poliisi ekola ku ntambula y’ebidduka, Edison Turamyomwe akabenje akatadde […]