Amawulire

Gavumenti ya Uganda eyanirizza aba M23

Ali Mivule

November 6th, 2013

No comments

Amaggye  ga UPDF gaanirizza ekyasaliddwaawo abayekera ba Congo aba M23 okukomya okulwanagana n’amaggye g’eggwanga lya Congo. Olunaku olw’eggulo abayekera aba M23 bategezezza nga bwe bagenda b=okuyita mkuteesa okutuukiriza ebiruubirirwa byaabwe Omwogezi wa maggye ga Uganda, Paddy ankunda  agamba kino kyakuteekawo embeera y’enteseganya okukomya okulwanagana kuno. […]

Teri kusengula be Bukasa

Ali Mivule

November 6th, 2013

No comments

Kooti e Nakawa eyisizza ekiragiro ekiyimiriza ab’ekitongole ky’ebibira okusengula abatuuze be Bukasa Omulamuzi Gladys Nakibuue y’ayisizza ekiragiro Bano babadde bagenda kusengulwa okuzimba omwaalo ogunagatta amawnaga ga East Africa Omwogezi w’abatuuze be Bukasa Sowedi Semakadde agamba nti kati baddembe okukola egyaabwe

Aba FDC bakkiriziganyizza

Ali Mivule

November 6th, 2013

No comments

Ab’ekibiina kya FDC kyaddaaki bakkiriziganyizza ku myaka gy’omukulembeze w’ekibiina era nebawera okukolera awamu. Olukiiko luno olukubiriziddwa Augustine Ruzindana lwayitibwa okusalawo eggoye ng’abamu bagamba nti pulezidenti alina ekisanja kya myaka ebiri ate abalala nti ky’etaano Bonna basazeewo nti kibeera kya myaka etaano nebawera nga bwebagenda okukolaganira […]

Abayekeera e Congo bawanise- Pulezidenti Museveni awera

Ali Mivule

November 5th, 2013

No comments

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni  ategeezezza ng’amawanga ga Africa bwegalina obusobozi bwonna obwetagisa okumalawo okulwanagana mu ggwanga lya Congo. Ono agamba nti emikago omuli ogwa  SADC, African Union ne n’ogutaba amawanga agali mu bitundu ebyetoloddwa Nalubaale girina obusobozi okukola ku kizibu kino , era nga […]

Adduse lwa musaala munene

Ali Mivule

November 5th, 2013

No comments

Abantu bangi badduka ku mirimu lwa misaala mibi Ssi bweguli eri omusajja ono omukugu mu byuuma bikali magezi eyasuddewo omulimu olw’ensimbi enyingi. Sandeep Jia, yaweereddwa pawunda 45o ekintu ekyamwewunyisizza n’asalawo okuva ku mulimu Omusajja ono enzaalwa ye Buyindi agamba nti ensimbi zino zimuleese ebirowoozo n’okumumaleko […]

Ono obufumbo abusabye na sswaga

Ali Mivule

November 5th, 2013

No comments

Abantu bangi bambala nebatonnya ku lunaku lwebasaba abagalwa baabwe okukkiriza okubafumbirwa Ssi bweguli eri omusajja Mike King yye asazeewo okwefuula masikiini ataliiko babe n’agenda mu maka agayamba abantu  ng’eno mukyala we gy’akola Ono atuuse mu maka gano ng’atintima , abantu olumulabye nebanguwa okumuyamba nga muno […]

Okuseka ddagala

Ali Mivule

November 5th, 2013

No comments

Obadde okimanyi nti okuseka kya mugaso nnyo eri omuntu? Ng’ogyeeko eky’okugatta abantu abali mu ssany,u enseko zikuuma omubiri nga mulamu bulungi Eky’enjawulo nti lino bweriba ddagala terigulwa era ng’omuntu wa ddembe okwekuumira mu bulamu bw’ensi nga musanyufu oba ng’asibye feesi. Enseko ziyamba okwongera omuntu obutofaali […]

Okutulugunya omwana kikosa obwongo

Ali Mivule

November 5th, 2013

No comments

Okutulugunya omwana nga muto Kireka enkovu ku bwongo bwe. Eno y’ensonga lwaki abatulugunyiziddwa bafuna ebizibu ne bewunika ate abalala bakola ebikolwa ebibi ennyo olw’embeera eno. Okunonyereza okwakoleddwa ku bavubuka kwazudde akakwate wakati w’omwana engeri gy’akuzibwaamu n’ekyo ky’afuuka mu bulamu ng’akuze. Kino kiyitirira ssinga omwana ono […]

KCCA ezzeemu okuwummuzibwa Agaba

Ali Mivule

November 5th, 2013

No comments

Abadde akulira eby’obuzimbi n’enguudo mu kampala awummuziddwa ku mulimu. George Agaba ku luno awummuziddwa lwa nguzi Ono lweyasooka okuwummuzibwa yali avunaanibwa kukuba masasi mu bantue Luzira kyokka nga bamwejjereza. Akulira abakozi mu KCCA, Jennifer Musisi agamba nti bafunye okwemulugunya okuwera nti ono abadde ajjako abantu […]

Eyasobezebwaako mu kirindi ekubye ku matu

Ali Mivule

November 5th, 2013

No comments

Embeera y’omuwala eyasobozebwaako ekirindi ezze ekuba ku matu. Asobola kati okutambulamu nga tawulidde nnyo bulumi yadde nga kati ekisinga okumutawaanya birowoozo. Omuwala ono agamba nti era ekimuluma kwekulaba nti abasajja bano tebannakwatibwa ng’alina okutya nti bayinza okumulumba. Abasajja ababiri abamu ku baakola ekikolwa kino bakyawenjebwa […]