Amawulire

Aba FDC bakkiriziganyizza

Ali Mivule

November 6th, 2013

No comments

Mafaabi and muntu

Ab’ekibiina kya FDC kyaddaaki bakkiriziganyizza ku myaka gy’omukulembeze w’ekibiina era nebawera okukolera awamu.

Olukiiko luno olukubiriziddwa Augustine Ruzindana lwayitibwa okusalawo eggoye ng’abamu bagamba nti pulezidenti alina ekisanja kya myaka ebiri ate abalala nti ky’etaano

Bonna basazeewo nti kibeera kya myaka etaano nebawera nga bwebagenda okukolaganira awamu okutwaala ekibiina mu maaso.

Mu kusooka wabaddewo akavuyo ekibinja ky’abavubuka bwekirumbye ababadde mu Lukiiko olusazeewo bino.