Amawulire
Abasomesa e Kyambogo balemeddeko
Olukiiko wakati w’abasomesa be Kyambogo n’akakiiko akafuzi lwabuse ngatewali kikyuuse. Bano balemereddwa okutuuka ku kukkaanya kwonna era nga bakuddamu okusisinkana olunaku lw’enkya Olukiiko luno lubadde lugendereddwamu kufuna kyakuddamu ku nsonga ezaaviirako abasomesa okussa wansi ebikola kati nnaku 8 ng’abayizi tebasoma. Mu lukiiko luno abasomesa bakiremeddeko […]
Okubala abantu kwa mwaka gujja
Gavumenti yakukozesa abantu abasoba mu kanaana okubala abantu mu ddimu eritandika omwaka ogujja Akulira ekitongole ekikola ku by’emiwendo Ben Mugyereza, agamba nti okuwandiisa abantu abakola okukola ku kuwandiisa abalala nakwo kwakutandika omwaka ogujja nga kuva ku mutendera gwa disitulikiti Ng’ayogerako eri bannamawulire , Mugyereza agambye […]
Abe kasokoso bagenze mu kkooti
Abatuuze be Kasokoso enkayaana z’ettaka lyaabwe bazitutte mu kooti Ssentebe w’ekyaalo , David Mugalya agamba nti bataddewo ekibinja kya bannamateeka 20 okuyamba abatuuze okutaasa ettaka lyaabwe okuva mu mikono gy’ekitongole kya National housing corporation. Abatuuze bawakanya eby’okubasengula nga bagamba nti ettaka lyaabwe era tebalina gyebalaga. […]
Empaka z’ebirevu
Kyabadde kijjobi ng’abasajjja abakuza ebirevu ne biwola bakungaamye okukuza olunaku lw’abantu abalina enviiri mu maaso Omukolo guno gubaawo buli mwaka nga gukozesebwa okusiima abo abasinga okulabirira ebirevu byaabwe nokubissaamu stitayiro Omwaka guno abasajja 300 beebetabye ku mukolo guno ogwatandika okubaawo mu mwaka gwa 1999 mu […]
Omufere akwatiddwa
Poliisi ekutte omusajja abadde afera abagula ettaka. Ono aliko gweyabbyeeko obukadde 110 nga yefuula nnanyini ttaka. Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Ibin Ssenkumbi agamba nti Moses Lule wakuvunaanibwa gwa kukozesa lukujjukukku okunyaga abantu. Mu ngeri yeemu era poliisi etandise okuwandiisa taxi okumalawo obubbi bw’omu […]
Kyambogo- Muddeeyo musomese
Abasomesa mu ttendekero lye Kyambogo balagiddwa okudda ku mirimu ku lw’okusatu luno awatali kwekwasa nsonga yonna. Kino kituukiddwaako ba memba ku kakiiko akatwala ettendekero abatudde olunaku lwaleero Bano era bakwasizza Prof Omolo Ndiege ebikola okuddayo ku mulimu gwe. Akulira akakiiko kano, Prof John Okedi agambye […]
E Kyambogo, nnaku musanvu tebasoma
Kati ennaku 7 be ddu nga ettendekero lye Kyambogo liggale. Olwaleero abakulira ettendekero lino poliisi ne prof . Ndiege Omolo nga ono abasomesa bamusindikiriza okuva ku ttendekero lino basuubirwa okwetaba mu lukiiko bateese okulaba ng’abayizi baddamu okusoma. Bano basooka kusisinkana lwa mukaaga kyokka nebatabaako webatuuka […]
Ebigezo by’ekibiina ky’omusanvu bitandise
Ebibuuzo by’ekibiina eky’omusanvu bitandise olunaku lwaleero. Abayizi abasoba mu mitwalo 58 beebasuubirwa okutuula ebigezo bino okwetoloola eggwanga. Abayizi bano bakedde mu kigezo kya okubala ate olweggulo bakole Eddiini. Ssabawandiisi w’ekibiina kya ekikola ku bigezo mu ggwanga ekya Uganda National Examinations board (UNEB) agamba nti baasindise […]
Ono atunda mbuzi ye
Omuwala enzaalwa ye Russia embereera atunda mbuzi ye Shatuniha ow’emyaka 18 agamba nti kyeky’obugagga kyokka ky’ayinza okutunda n’ajjamu ensimbi zeyetaaga mu kadde kano. Ono agambye nti bw’aba kyamaguzi kipya ttuku ekitakozesebwanga era ng’abakyetaaga bandibadde bamuwa ensimbi zeyetaga. Embuzi eno egitunda Euro lukumi mu lusnavu mu […]
Wenger yewaaanye
Akulira tiimu ya Arsenal, Arsene Wenger agamba nti musanyufu nti basobodde okukakasa ensi nti bakyalimu ssupu. Kino kiddiridde Arsenal okukuba Liverpool goolo 2 nga yyo eyanjala ngalo Wenger agambye nti bagenze okuzannya nga bamaliridde oluvanyuma lw’okuwangulwa emirundi ebiri nga bali waka. Wenger agamba nti ate […]