Amawulire

Abasomesa e Kyambogo balemeddeko

Ali Mivule

November 5th, 2013

No comments

Prf Ndige

Olukiiko wakati w’abasomesa be Kyambogo n’akakiiko akafuzi lwabuse ngatewali kikyuuse.

Bano balemereddwa okutuuka ku kukkaanya kwonna era nga bakuddamu okusisinkana olunaku lw’enkya

Olukiiko luno lubadde lugendereddwamu kufuna kyakuddamu ku nsonga ezaaviirako abasomesa okussa wansi ebikola kati nnaku 8 ng’abayizi tebasoma.

Mu lukiiko luno abasomesa bakiremeddeko nga bwebatasobola kukola na Prof Omolo Ndiege nga kati bakutuula olunaku lw’enkya

Bino byonna bigenda mu maaso ng’abakulira ettendekero bawadde abasomesa bano okutuusa olunaku lw’enkya okuba nga bazze mu bibiina naye nga kino kirabika ng’ekitasoboke