Amawulire

KCCA ezzeemu okuwummuzibwa Agaba

Ali Mivule

November 5th, 2013

No comments

Agaba

Abadde akulira eby’obuzimbi n’enguudo mu kampala awummuziddwa ku mulimu.

George Agaba ku luno awummuziddwa lwa nguzi

Ono lweyasooka okuwummuzibwa yali avunaanibwa kukuba masasi mu bantue Luzira kyokka nga bamwejjereza.

Akulira abakozi mu KCCA, Jennifer Musisi agamba nti bafunye okwemulugunya okuwera nti ono abadde ajjako abantu ensimbi

Musisi agamba nti kino kimenya amateeka agatwala abakozi ba KCCA era nga bakusooka kumunonyerezaako nga tannaba kudda ku mirimu