Olwali

Embizzi eyingidde ebyafaayo

Ali Mivule

November 18th, 2013

No comments

Mu ggwanga lya Bungereza waliwo embizzi eyingidde mu bitabo by’ebyafaayo lwa kuzaala obwana 27 mu myezi mwenda Embizzi eno yazaala obwana 11 mu mwezi gw’okubiri nga kati yazade obulala 16 ssabiiti ewedde Embizzi eno amanyiddwa nga Daisy ya myaka 2

Akatale ka USAFI kakyaali kakalu

Ali Mivule

November 18th, 2013

No comments

Abatembeyi ku makubo basabiddwa okugenda mu katale ka USAFI okukkalabya egyaabwe nga teri abakuba ku mukono Amyuka omwogezi w’akatale kano Mohammed Segwaanyi agamba nti emitwalo 150 gikyaali mikalu Ono agamba nti bakyayogeraganyaamu ne bannanyini katale okulaba nti bakendeeza ku nsimbi ezisasulwa buli mwezi. Mu kadde […]

Akafuba- Abe Iganga basetuuse

Ali Mivule

November 18th, 2013

No comments

Abasawo mu distuliki ye Iganga bali mu kucacanca oluvanyuma lw’okukizuula nti abantu abekebeza obulwadde bw’akafuba beeyongeredde ddala Abaddukanya distulikiti eno bagamba basobodde okuzuula abantu 50 abalina akafuba ekibadde kitasoboka luli nga bazuulayo abantu 10 bokka Akulira ekiwayi ekirwanyisa obulwadde buno mu district eno, Joseph Iga […]

Akeedimo ke Kyambogo kayimirdde

Ali Mivule

November 18th, 2013

No comments

Abasomesa b’ettendekero lye Kyambogo kyaddaaki basazizzaamu akeediimo kaabwe. Kino kiddiridde olukungaana wakati w’abasomesa bano ne minista omubeezi akola ku matendekero aga waggulu John Crizistom Muyingo . Gavumenti okusooka yategeezezza nga bweyabadde agenda  okuggalawo ettendekero lino saako n’okukangavvula abasomesa bonnaa abapika banaabwe obutadda mu bibiina. Bano […]

Loodimeeya akwatiddwa

Ali Mivule

November 18th, 2013

No comments

Loodimeeya w’ekibuga kampala, Salongo Erias Lukwago akwatiddwa. Lukwago abamukutte yakafuluma amaka ge e Wakaliga agakedde okwebulungulwa poliisi. Lukwago atwaliddwa ku poliisi ye Naggalama. Poliisi era ekutte akulira abakyala ba FDC Ingrid Turinawe abadde atuuse ku Nakivubo settlement awategekeddwa olukiiko. Wano abawera bakwatiddwa poliisi n’ebaggalira Ne […]

Ababaka babazinzeeko, akatale ka Kisekka kaggaddwa

Ali Mivule

November 18th, 2013

No comments

Poliisi esazeeko ababaka okuli  Mohammed Nsereko, Barnabas Tinkasimire, Joseph Sewungu, ne Theodore Sekikubo nga bano babadde mu katale ke wa kisekka. Ababaka bano babadde bagenze kukyalira basuubuzi mu kaseera nga beekalakaasa nga bawakanya eby’okusindikiriza loodimeeya Erias Lukwago Ababaka bano okuvanyuma baddukidde mu kifo kya little […]

Loodimeeya gumusse mu vvi- ayuuga

Ali Mivule

November 14th, 2013

No comments

Ebya  Lord Mayor, Erias Lukwago bibi. Akakiiko akabadde kawuliriza okwemulugunya kwaba kansala 17 nga baagala Lukwago agobwe mu ofiisi ye nti emirimu gimulemye kamusingisizza emisango. Mu gimu ku misango egisingisiddwa Loodi Mayor mwemuli ogw’okulemererwa okutuuza enkiiko za ba ansala ng’mateeka bwegalagira. Minister wa Kampala  Frank […]

Abakunganyizza okusaba omukwano

Ali Mivule

November 11th, 2013

No comments

Omusajja amaze ssabiiti mukaaga nga yetegeka kusaba muganzi we okumufumbirwa kyadaaki akikubyeewo Lee Vernon apamgisa kwaaya namba , abazinyi kko n’abakumba nga balina bandi nga bano bayise ku nguudo ezitali zimu Bano obwedda buli gyebayita ng’abantu era batuukidde w’abadde ne muganzi we , bwaatyo afukamidde […]

Olukalala lwa ba difiiri

Ali Mivule

November 11th, 2013

No comments

Akakiiko k’empaka z’ekikopo kya CECAFA kafulumizza olukalala okuli ba difiiri 18 abagenda okulamula empaka za luno Ku bano mwenda ba difiiri ate abalala ba kiyambi. Wabula bano bonna bagenda kukeberebwa n’okuyita mu kasengejja okulaba oba bali fiiti Uganda akiikiriddwa Denis Batte n’omuyambi we Mark Sonko.

Abasomesa basitudde buto

Ali Mivule

November 11th, 2013

No comments

Abasomesa okwetwoloola eggwanga lyonna nate bategeezeza nga bwebagenda okuddamu okuteeka wansi ebikola, singa gavumenti  tebanguyize musaala gwaabwe. Ssabawandiisi w’ekibiina ekibagatta James Tweheyo agambye nti gavumenti  kirabika nga ebazanyira ku bwongo , anti nabuli kati ekyagaanyi okutuukiriza byebakiriziganyaako nga bakomya akeediimo kaabwe. Ono agamba nti baali […]