Amawulire

Loodimeeya gumusse mu vvi- ayuuga

Ali Mivule

November 14th, 2013

No comments

Lukwago and collegues

Ebya  Lord Mayor, Erias Lukwago bibi.

Akakiiko akabadde kawuliriza okwemulugunya kwaba kansala 17 nga baagala Lukwago agobwe mu ofiisi ye nti emirimu gimulemye kamusingisizza emisango.

Mu gimu ku misango egisingisiddwa Loodi Mayor mwemuli ogw’okulemererwa okutuuza enkiiko za ba ansala ng’mateeka bwegalagira.

Minister wa Kampala  Frank Tumwebaza  ategeeezza nga bw’agendaokuyita olukiiko lwaba kansala abatula ku lukiiko lwa KCCA mu naku 14 ,bakubaganye ebirowoozo ku alipoota eno oba lord mayor asigala mu ntebe oba nedda.

Bbo ab’oludda oluvuganya gavumenti mu lukungaana lwaabwe lwebakubye ku  ofiisi y’omukago ogutaba ebibiina ebivuganya gavumenti ku luguudo katonga , baweze okukuba enkungaana ezivumirira ebivudde mu alipoota esingisa lord Mayor Emisango.

Bano baweze nti bakwogera eri abalonzi bomu kampala okubategeeza ku alipoota eno gyebawakanya.

Bwabadde ayogerako ero banamawulire eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC DR. Kiiza Besigye asabye gavumenti okussa ekitiibwa mu ddoboozi lyabalonzi.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *