Ebyobulamu
Obulwadde bwa Hepatitis B
Palamenti eyisizza ekiteeso ekisaba nti gavumenti ebeeko ky’ekolera omuwendo gw’abantu abalina obulwadde bwa Hepatitis B mu ggwanga ogweyongedde. Obulwadde buno bukwata kibumba era nga busenkenya mpola omuntu okutuusa lw’afa. Ekiteeso ekikola okusaba kuno kireeteddwa omubaka omukyala owe Kyenjojo, Linda Timbigamba agambye nti obulwadde buno businga […]
Obubenje bwa piki
Abasawo abalongoosa abantu mu ddwaliro ekkulu e Mulago balaze okutya olw’abantu abakubwa obutayimbwa buli lukya okweyongera Akulira abasawo bano, Dr. Michael Muhumuza agamba nti bafuna abantu abali wakati w’abataano n’ekkumi buli lunaku nga bakubiddwa obutayimbwa Dr.Muhumuza agamba nti abasinga baba bakoseddwa nnyo ku mitwe ekikosa […]
Babasalidde ku bibonerezo
Richard Arinaitwe nga ono abadde ku gwa kufa awonye akalabba oluvanyuma lwa kkooti okumukendereza ku kibonerezo nga kati wakusibwa mayisa. Ono nga yali muyizi wa yunivasite ye Makererere yakkakkana ku bantu 3 n’abatta ate bweyatwalibwa mu kooti n’agwa omulamuzi mu malaka. Omulamuzi wa […]
Besigye bamusazeeko
Emirimu gisanyaladde ku luguudo lwa Duster Street kumpi ne bank ya Cairo international bank oluvanyuma lwa poliisi okusalako eyali senkagale wa FDC Dr Kiiza Besigye Besigye ategezezza nga bwabadde ayolekera Nsambya ku mirimu gye. Ono poliisi emaze n’emuwerekera okutuuka e Nsambya ku ssundiro lye ery’amafuta […]
Ababba enyimba babasalidde amagezi
Oluvanyuma lwabayimbi okwongera okwekubira enduulu olwobutafuna mu music wabwe olwabasala enyimba zabwe, ekitongole ekikola ku kuwandiisa bizinensi wano mu ggwanga kitegezezza nga bwekigenda okuteekawo ekitongole kya poliisi ekyokukwata abo bonna abooza mu nyimba z’abayimbi bano. Akuliramu okuwandiisa mu kitongole kino BemanyaTwebaze agamba poliisi yakulondoola abasala […]
Akafuba kangi mu balina mukenenya
Omuwendo gw’abantu abalina mukenenya naye nga balina n’akafuba gulese abakulembeze nga banyeenya mitwe Kigambibwa okuba nti ebitundu 50 ku kikumi ku bantu bano balina akafuba Ab’ekibiina ekigatta abakyala abalina obulwadde bwa mukenenya bagamba nti ku bano ebitundu 45 ku kikumi bokka beebafuna obujjanjabi nga guno […]
Besigye Lukwago bayimbuddwa,bazzeemu okukwatibwa
Poliisi ezzeemu okukwata eyali akulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye ne loodimeeya Erias Lukwago Bano babadde bayimbuddwa kooti oluvanyuma lw’okuggulwaako emisnago gy’okukuma mu bantu omuliro Bano babakutte batuuka ku kkanisa ya KPC era poliisi n’ebazingako oluvanyuma lw’okukuba omukka ogubalagala Wabula bano nga bakava mu […]
Abe Kasokoso babali bubi
Ministry y’eby’ettaka erabudde abatuuze ku ttaka lino okugondera etteeka okusinga okukozesa eryanyi olwenkaayana ezigenda maaso ku ttaka lino. Ettaka lino eririko obwagagavu bwa yiika 292.7 lizze likayaanirwa abatuuze n’ekitongole kya National Housing corporation. Minister omubeezi ow’ebyettaka Sam Engola agamba ettaka lino abatuuze lyebakayanira lya kitongole […]
Aba DP batabuse ku Lukwago ne Besigye
Abavubuka b’ekiwayi kya Uganda young democrats bavumiridde engeri Dr Kiiza Besigye ne Erias Lukwago gyebakwatiddwamu,nebatuuka n’okubeera mu makomera nga tebamanyi misango gibavunaanwa. Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ,ssabawandiisi wekibiina kino , Charles Wasswa agambye nti kino kyabadde tekyetagisa kubanga abakulembeze bano tebaakoze ffujjo lyonna nga bakwatibwa. […]
Ba kansala balayiziddwa
Akulira abakozi mu kibuga Kamapala Jennifer Musisi agamba okulonda kwa bakansala okuva mu bitongole ebikugu kubadde kukandaliridde nyo nga ate bamugaso nyo mu kuddukunya emirimu mu kibuga. Bw’abadde mu kulayiza abana abalondeddwa , Musisi agambye nti bano bakuyamba mu kuddabulula ekibuga kampala ekibadde kikyaddiridde bw’ogeregeranya […]