Ebyobulamu

Akafuba kangi mu balina mukenenya

Ali Mivule

November 21st, 2013

No comments

HIV ribbon

Omuwendo gw’abantu abalina mukenenya naye nga balina n’akafuba gulese abakulembeze nga banyeenya mitwe

Kigambibwa okuba nti ebitundu 50 ku kikumi ku bantu bano balina akafuba

Ab’ekibiina ekigatta abakyala abalina obulwadde bwa mukenenya bagamba nti ku bano ebitundu 45 ku kikumi bokka beebafuna obujjanjabi nga guno omuwendo mutono nnyo.

Omukulu mu kibiina kino Dorothy Namutamba kino akitadde ku bbula ly’eddagala eriweweza ku mukenenya mu malwaliro ga gavumentu

Ono asabye abakulembeze ba disitulikiti eno okutuula wansi bateme empenda ku ngeri y’okulwanyisaamu obuzibu buno okulaba nti abantu bano bawangaala.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *