Amawulire

Ba kansala balayiziddwa

Ali Mivule

November 21st, 2013

No comments

Musisi

Akulira abakozi  mu kibuga  Kamapala Jennifer Musisi agamba okulonda kwa bakansala okuva mu bitongole ebikugu  kubadde kukandaliridde nyo nga ate bamugaso nyo mu kuddukunya emirimu mu kibuga.

Bw’abadde mu kulayiza abana  abalondeddwa , Musisi  agambye nti bano bakuyamba mu kuddabulula ekibuga kampala ekibadde kikyaddiridde bw’ogeregeranya n’ebibuga ebirala.

Wabula bbo ab’oludda oluvuganya gavumenti bategeezezza nga ba kansala bano bwebamenya amateeka kubanga olukiiko lwebalayiziddwamu teruyitiddwa loodimeeya

Mu balayiziddwa kuliko Frank Kanduho, owa bannamateeka,Verna Mwinganisa Mbabazi ow’abakubi ba pulaani,  Eng Karuma Kagyina okuva mu bakubi ba pulaani ne  Dr Denson Nyabwana okuva mu basawo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *