Amawulire

Besigye Lukwago bayimbuddwa,bazzeemu okukwatibwa

Ali Mivule

November 21st, 2013

No comments

Besigye free

Poliisi ezzeemu okukwata eyali akulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye ne loodimeeya Erias Lukwago

Bano babadde bayimbuddwa kooti oluvanyuma lw’okuggulwaako emisnago gy’okukuma mu bantu omuliro

Bano babakutte batuuka ku kkanisa ya KPC era poliisi n’ebazingako oluvanyuma lw’okukuba omukka ogubalagala

Wabula bano nga bakava mu kkomera baweze nga bwekitandika obutandise nga bakusigala nga balwanirira eddembe lyaabwe

Bbo bannamateeka baabwe nga bakulembeddwaamu Medard Lubega Seggona bategeezezza nga bwebatajja kukkiriza kutuula ng’okuvvoola amateeka kugenda mu maaso.