Amawulire

Alipoota ku Kampala egobeddwa

Ali Mivule

November 21st, 2013

No comments

Palamenti egobye alipoota eyakolebwa okuva mu kunonyereza ku nsonga za KCCA Kiddiridde ababaka abatuula ku kakiiko akanonyereza okwegaana ebyaali mu alipoota nga bisingisa loodimeeya omuasngo Akulira akakiiko Steven Baka agambye nti ba memba abasinga beegana ebyaali bissiddwa mu alipoota. Baka agambye nti alipoota eno yawandiikibwa […]

Ono baaba Yeekaza

Ali Mivule

November 21st, 2013

No comments

Kubamu akafananyi nga muwezezza emyaka etaano ne muganzi wo nga mwagalana. Oyiiya eky’okukola ekyenjawulo okugezesa mukyala wo era ekikujjira kyakumulimba nti oyagala akusonyiwe kubanga oliko omuwala oba omusajja gwewayagala . Kino okikola kugezesa mukyala wo oba balo kyokka nga naye akugamba nti naye ayagala omusonyiwe […]

Ekkomera lye Luzira ssiryakusengulwa

Ali Mivule

November 21st, 2013

No comments

Ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko akakola ku nsonga z’amateeka bawakanyizza eby’okusengula ekkomera lye Luzira Akulira amakomero Johnson Byabashaija olwaleero alabiseeko mu palamenti n’ategeeza nga bwebalina enteekateeka ezimba ekkomera eddala ettaka lye Luzira baliwe bamusiga nsigo Ababaka okubadde Betty Nambooze, Reagan Okumu ne Alice Alaso […]

Abaana banafuwa

Ali Mivule

November 20th, 2013

No comments

Abaana bangi tebasobola kudduka kutuuka ku bakadde baabwe nga bwebaali nga bato. Abakugu bagamba nti abaana abazaalwa bajja banafuwa era nga nebebazaala nabo bakunafuwa Abanonyereza bano batunuulidde abaana abasoba mu bukadde 25 m,u mawanga 28 okwetoloola ensi Kino kigenda kuyamba bangi okutegeera lwaki bajjajja ffe […]

Siriimu akwata mangu nga yakakwata omuntu

Ali Mivule

November 20th, 2013

No comments

Kizuuliddwa nti omuntu aba yakafuna obulwadde bwa mukenenya aba asinga mangu omulala ssinga wabaawo okwegatta Ab’akakiiko akakola ku bulwadde bwa mukenenya  bagamba nti akaseera kano kabulabe nnyo Omusawo okuva mu kakiiko kano, Dr Vinand Natulyaagamba nti mu ssabiiti 3 oba nnya, omuntu nga yakafuna obulwadde […]

Bugerere ayuguumye

Ali Mivule

November 20th, 2013

No comments

Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda mutebi ow’okubiri akunze abaganda okubeera obumu n’okukoma okwerumaruma. Obubaka bwe bumwetikkiddwa Kamalabyonna Charles Peter Mayiga ku mukolo gw’okusonda ensimbi z’amasiro ezisobye mu bukadde 50 Mu bubaka bwe Katikkiro  asabye bannabugerere okunywerera ku mutanda, n’okukola ennyo. Alayidde okufafaagana n’omuntu aneekiika […]

Sejusa agobeddwa mu palamenti

Ali Mivule

November 20th, 2013

No comments

  Eyali akulira ekitongole ekikessi mu ggwanga Gen David Sejusa agobwa mu palamenti Akakiiko akakola ku mateeka ga palamenti akaweebwa omulimu okunpnyereza ku neeyisa ya Sejusa keekasazeewo nti ekifo ky’ono kirangirirwe nti kikalu Akulira akakiiko kano, Fox Odoi agambye nti bafubye okunoonya Sejjusa okulaba nti […]

Abakyala batulugunya abasajja

Ali Mivule

November 20th, 2013

No comments

Poliisi yakussaawo ekiwayi eky’enjawulo nga kikola ku basajja abatulugunyizibwa bakyala baabwe   Kino kiddiridde emisango gy’abakyala okutulugunya ba baabwe okweyongera.   Bino Gen Kaihura y’abyogedde bw’abadde asisinkanye abakulu mu poliisi   Kaihura agamba nti abakyala bagasse n’abaana okutulugunya abasajja

Omukyala omuzito afiiridde mu kabenje

Ali Mivule

November 20th, 2013

No comments

Poliisi etandise okunonyereza ku kabenje omwafiiridde omukyala w’olubuto.   Omwami yeeyabadde addusa mukyala we mu ddwaliro ng’olubuto lumuluma kyokka piki kwebabadde n’ekola akabenje omukyala n’afiirawo.   Fred Kalule y’abadde atwala Shamim Nalubega kati omugenzi okuzaala mu ddwaliro lye Rubaga wabula tasobodde kutuuka oluvannyuma lw’okugwa ku […]

Katikkiro asiibye ku Palamenti- obukadde 150 bwebusondeddwa

Ali Mivule

November 19th, 2013

No comments

Sipiika wa palamenti omukyala Rebecca Kadaga agamba nti musanyufu nti enkolagana wakati wa Buganda ne gavumenti buli lukya eyongera okutereera Bino abyogedde asisinkanyeemu kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga akyaddeko ku palamenti olunaku lwaleero. Ono agambye nti era musanyufu nti Kamalabyonna Mayiga ataddewo enkolagana ennungamu […]