Amawulire

Bugerere ayuguumye

Ali Mivule

November 20th, 2013

No comments

katikkiro in kayunga

Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda mutebi ow’okubiri akunze abaganda okubeera obumu n’okukoma okwerumaruma.

Obubaka bwe bumwetikkiddwa Kamalabyonna Charles Peter Mayiga ku mukolo gw’okusonda ensimbi z’amasiro ezisobye mu bukadde 50

Mu bubaka bwe Katikkiro  asabye bannabugerere okunywerera ku mutanda, n’okukola ennyo.

Alayidde okufafaagana n’omuntu aneekiika mu nteekateeka za Buganda ez’enkulakulana.

Okusonda ensimbi z’amasiro e Bugerere kubadde kwa bbugumu nga n’abakadde tebalutumiddwa mwana

Omusasi waffe Eriya Lugenda k’atuwe emboozi y’omukadde awaddeyo amagi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *