Amawulire

Sejusa agobeddwa mu palamenti

Ali Mivule

November 20th, 2013

No comments

 

Sejusa

Eyali akulira ekitongole ekikessi mu ggwanga Gen David Sejusa agobwa mu palamenti

Akakiiko akakola ku mateeka ga palamenti akaweebwa omulimu okunpnyereza ku neeyisa ya Sejusa keekasazeewo nti ekifo ky’ono kirangirirwe nti kikalu

Akulira akakiiko kano, Fox Odoi agambye nti bafubye okunoonya Sejjusa okulaba nti yewozaako ku misango gy’obutakola mirimu gye mu palamenti kyokka nga tebasobodde

Odoi era agambye nti kyakakasibwa nti Sejusa yepena enkiiko azisukka mu 15 ezoogerwaako amateeka  era nga tewabaddewo kirala okujjako okulagira nti agobwe mu palamenti

Alipoota eno eyanjiddwa mu palamenti eya wamu era nga kikakasiddwa nti Sejusa takyaali mukiise w’amaggye g’eggwanga mu palamenti

Twogeddeko ne munnamateeka we Fred Mukasa Mbidde ategeezezza nga kino bwebaali bakisuubira

Sejusa yadduka mu ggwanga oluvanyuma lw’okuwandiika ebbaluwa nga yemulugunya ku ky’okutiitiibya mutabani w’omukulembeze w’eggwanga n’ekigendererwa ky’okumuzza mu kifo kya kitaawe

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *