Olwali

Lunkumpe yeeyisizza kigagga

Ali Mivule

November 19th, 2013

No comments

Omukyala eyagabira lukumpe ataliiko w’asula essimu kimuweddeko, lunkumpe ono bw’agikomezzaawo. Omukyala ono nno okugaba essimu teyakigenderera nga yakikola mu butanwa yagyerabira mu mugugu gweyagaba. Lunkumpe ono agambye nti mu kifo ky’okubba essimu eno, kimulumirizza okulaba nti essimu eno egizzayo eri nyini yo era ng’akikoze. Wano […]

Sula Matovu akamirwa bina

Ali Mivule

November 19th, 2013

No comments

Omuwuwuttanyi wa Uganda Sula Matovu yegasse ku tiimu Hakeni mu Sweden. Matovu abadde agucangira mu Ebil FC eya Iraq atadde omukono ku ndagaano ya mwaka gumu kyokka ng’asuubiziddwa nti yakwongezebwaayo okutuuka ku myaka esatu. Kino kizze ng’omuzanyi omulala Tonny Mawejje asemberedde okwegatta ku tiimu ya […]

Lunaku lwa kabuyonjo-Bangi beekuniza

Ali Mivule

November 19th, 2013

No comments

Nga Uganda yegatta ku nsi yonna okukuza olunaku lwa kabuyonjo abantu bangi okwetoolola ensi n’okutuusa kati tebamanyi mugaso gwa kabuyonjo. Ekibiina ky’amawanga amagatte kitegezezza ng’abantu abasoba mu bukadde 2 mu nsi yonna bwebatalina kabuyonjo nga kino kiviriddeko bangi okufa endwadde eziva ku bukyaafu sso nga […]

Omusumba Kiwedde akwatiddwa

Ali Mivule

November 19th, 2013

No comments

Omusumba William Muwanguzi abangi gwebamanyi nga Kiwedde azzeemu okukwatibwa Ono abadde agezaako kutoloka okuva mu kkomera lye Kalisiizo gyeyaggalirwa Muwanguzi yakwatibwa ssabiiti ewedde bweyasangibwa nga yeeyita omufaaza era ng’atuuzizza abantu mu kitambiro ky’emmisa era n’aggulwaako emisango gy’okweyita ky’atali Muwanguzi addiziddwaawo mu kkomera.

Besigye, Lukwago bakwatiddwa

Ali Mivule

November 19th, 2013

No comments

Eyali akulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye akwatiddwa. Besigye akimazeeko buli omu bw’akubye poliisi ekimmooni n’alabikako wakati mu kibuga nga teri amusuubira Ono atuukidde mu kikuubo gy’avudde n’agenda ku mini-price mu kampala era wano poliisi poliisi webagibagulizzaako omukka ogubalagala negukaawa Besigye akwatiddwa n’atwalibwa ku […]

Ababaka okuva mu bitundu ebirala begasse ku Lukwago

Ali Mivule

November 18th, 2013

No comments

Ababaka ba palamenti okuva mu bitundu ebirala beegasse ku banaabwe okuva mu kampala okuwakanya ebiri mu alipoota eyakolebwa ng’evunaana loodimeeya Erias Lukwago ogw’obutakola bulungi mirimu gye. Ababaka okubadde Mariam Nalubega, Wilfred Nuwagaba, Thoedre Ssekikubo, Abdu Katuntu ne Joseph Ssewungu bagamba nti tebagenda kutuula nga balaba […]

Temuyingirira bannamawuilre

Ali Mivule

November 18th, 2013

No comments

Gavumenti ewereddwa amagezi okwewala okweyingiza mu mirimu gya banamawulire nga bategeeza eggwanga ekigenda maaso. Kino kiddiridde  RDC wa Kampala  Mpimbaza Hashaka okuwandikira emikutu gya Radio 2 nga agirabula obutaddamu kukyaaza baludda luvuganya gavumenti bokka nga ayagala na b’oludda lwa gavumenti baweebwe omukisa Wabula ekibiina ekirwanirira […]

Abasoba mu 10 bakwatiddwa

Ali Mivule

November 18th, 2013

No comments

Poliisi webuzibidde ng’ekutte abantu 11 Bano beebamu ku babadde beekalakaasa nga bawakanya alipoota eyakolebwa ng’esingisa Loodimeeya Erias Lukwago omusango gw’obutakola bulungi mirimu gye Amyuka omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano, Patrick Onyango agamba nti munaana ku bano baggaliddwa mu kampala ate abalala abasatu bali Naggalama. […]

Okulonda abanajjuza olukiiko lwa KCCA

Ali Mivule

November 18th, 2013

No comments

Okulonda abakiise b’ebitongole by’abakugu nakwo kukubye koodi nga buli kimu kiwedde Bano abawerera ddala bana bagenda kulondebwa olunaku lw’enkya okutuuka ku lukiiko lwa KCCA olwo lube nga lujjuvu bulungi era nga ssinga lutuula luba lusobola okugoba loodimeeya Amyuka omwogezi w’akakiiko akalondesa, Paul Bukenya agamba nti […]

Uganda yakukwata Rwanda

Ali Mivule

November 18th, 2013

No comments

Uganda yakuggulawo empaka za CECAFA ne Rwanda ng’ennaku z’omwezi 23 omwezi guno. Omupiira gwakubeera mu kibuga Machakos Guno gugenda kubeera mulundi gwakubiri mu kaseera akatono eno. Tiimu zino zasisinkanyeeko ku lw’omukaaga era nebagwa maliri nga teri alengedde katimba ka munne