Amawulire

Lunaku lwa kabuyonjo-Bangi beekuniza

Ali Mivule

November 19th, 2013

No comments

bwaise toilets

Nga Uganda yegatta ku nsi yonna okukuza olunaku lwa kabuyonjo abantu bangi okwetoolola ensi n’okutuusa kati tebamanyi mugaso gwa kabuyonjo.

Ekibiina ky’amawanga amagatte kitegezezza ng’abantu abasoba mu bukadde 2 mu nsi yonna bwebatalina kabuyonjo nga kino kiviriddeko bangi okufa endwadde eziva ku bukyaafu sso nga zisobola okwewalika.

Sabawandiisi w’ekibiina ky’amawanga amagatte Ban Ki Moon agamba wakyaliwo obulombolombo obugaana abantu okusima kabuyonjo zino olwo nebalwala endwadde eziva ku bukyafu.

Ono agamba buli mwaka abaana  abali wansi w’emyaka 5 emitwalo egisoba mu kinaana beebafa  ekiddukano olw’obukyafu.