Amawulire

Ababaka okuva mu bitundu ebirala begasse ku Lukwago

Ali Mivule

November 18th, 2013

No comments

Mps opposed

Ababaka ba palamenti okuva mu bitundu ebirala beegasse ku banaabwe okuva mu kampala okuwakanya ebiri mu alipoota eyakolebwa ng’evunaana loodimeeya Erias Lukwago ogw’obutakola bulungi mirimu gye.

Ababaka okubadde Mariam Nalubega, Wilfred Nuwagaba, Thoedre Ssekikubo, Abdu Katuntu ne Joseph Ssewungu bagamba nti tebagenda kutuula nga balaba ssemateeka ayisibwaamu olugaayu

Bano bagamba nti bannakampala beerondera omuntu waabwe era teri muntu alina buyinza kubajjako ddembe lino.

Bano bagamba nti bakuyita mu mateeka n’ebyobufuzi okuwakanya ebyasaliddwaawo era nebewera nti kampala tajja kuva mu mikono gy’abavuganya ate nga bakukulemberwaamu Erias Lukwago

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *