Amawulire

Kawefube w’okulonda meeya omuggya atandise

Ali Mivule

November 27th, 2013

No comments

Akakiiko akakola ku by’okulonda katandise okukola ku by’okulonda kwa loodimeeya Kiddiridde akulira abakozi mu KCCA Jennifer Musisi okubawandiikira ng’abetegeeza ng’ekifo kino bwekiri ekikalu Omwogezi w’akakiiko akalondesa, Jotham Taremwa agamba nti etteeka libawa emyezi mukaaga okubeera nga bategese okulonda. Bbo ababaka mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga bagaala […]

Tutundire eddagala mu mikebe

Ali Mivule

November 27th, 2013

No comments

Kkampuni ezitunda eddagala zigamba nti zifiiriddwa ensimbi mpitirivu oluvanyuma lwa gavumenti okuyimiriza okutunda eddagala mu bikebe. Akulira abatunzi b’eddagala mu kkampuni ya Kampala pharmaceuticals Uganda Limited Nazeem Mohamad agamba nti okussa eddagala mu buveera kwebakubisanya amanya g’eddagala lino kwa buseere nnyo. Mohammed agamba nti n’amawanga […]

China esobola okuyamba mu by’obulamu

Ali Mivule

November 27th, 2013

No comments

Ebibiina by’obwannakyeewa ng’amakanda gabissa mu by’obulamu biwanjagidde eggwanga lya China okwongera ensimbi mu lutalo ku bulwadde bwa mukenenya. Bano bagamba nti China essizza ensimbi nyingi nnyo mu nguudo nga kati bagala ate etunuulire ebyobulamu. Omukungu mu kibiina kya AIDS Healthcare foundation Alice Kayongo agamba nti […]

Katikkiro alabudde gavumenti ku kuvvoola amateeka

Ali Mivule

November 27th, 2013

No comments

Kamala byonna wa Buganda oweekitiibwa Charles Peter Mayiga avuddemu omwaasi ku nsonga za kampala. Katikkiro  Mayiga agamba nti kikyaamu okuyisa olugaayu mu nsonga z’amateeka Katikkiro agamba nti bino byonna biyinza okuvaako obunkenke mu kibuga awatali nsonga eri awo. Bino Katikkiro abyogedde bw’abadde mu lusiisira lw’okusonderako […]

Okunywa sigala butwa eri abalina mukenenya

Ali Mivule

November 27th, 2013

No comments

Abantu abalina obulwadde bwa mukenenya ate nga banywa sigala bakendeeza obulamu bwaabwe era nga tebasobola kuwangaala nga banaabwe abatamunywa. Akulira ekibiina ekirwanyisa omuze gw’okunywa sigala, Gilbert Muyimbi agamba nti sigala ono anyway omuntu n’abeera ng’awewuka ekinafuya omubiri gwe olwo n’endwadde endala nezimulumba. Ono era asabye […]

Bano babbira abayizi ebigezo

Ali Mivule

November 27th, 2013

No comments

Poliisi e Luweero  ekutte abakulira amasomero 2 lwakubbira bayizi bigezo bya kibiina ky’omusanvu. Abakwatidwa kuliko  Hadijah Namatovu  Owa Ntumwa primary school, Ne Siraje  Ssegujja  owa Nsaasi UMEA primary  school. Omwogezi wa poliisi  mu kitundu kino Lameck Kigozi atugambye nti bakizudde nti  omukyala Namatovu yafuna abayizi okuva […]

Egya CECAFA gitandise leero

Ali Mivule

November 27th, 2013

No comments

Tiimu ya Uganda cranes olwaeero lwetandika okulwana okwedizza ekikopo kyayo ekya Cecafa nga egulawo ne Amavubi stars aba Rwanda. Uganda eri mu kibinja  C with Rwanda, Sudan and Eritrea. Tiimu 12 zeezivuganya okuwangula emitwalo gya dola 10 egigenda okugabanibwa tiimu esatu ezinanywa mu zinaazo akendo. […]

Owa NRM awangudde

Ali Mivule

November 27th, 2013

No comments

Munna NRM  Stephen Kangwagye ye mubaka wa palamenti omuggya owe bukanga. Ono awangudde gwebabadde basinga okuba mu lwokaano, Nathan Byanyima n’obululu 18,204 ate ye Byanyima n’afuna obululu. Eyakulembeddemu okulonda kuno,  Richard Twikirize agamba nti obululu obwafudde bwabadde busoba mu 1200. Omu ku balondodde okulonda kuno okuva […]

Ebibiina ebivuganya byegasse ku Lukwago

Ali Mivule

November 26th, 2013

No comments

Ebibiina ebivuganya gavumenti byegasse mu kulwanira entebe y’obwa loodimeeya Mu kiwandiiko kyebifulumizza, abakulira ebibiina bino bategeezezza nga bakukozesa amakubo gonna okulaba nti Erias Lukwago adda mu ntebe Abakulembeze bano okubadde, John Ken Lukyamuzi wa CP, Asuman Basalirwa owa Jeema, Olara Otunnu owa UPC ne Gen […]

Eyabula kimuweddeko

Ali Mivule

November 26th, 2013

No comments

Omuvubuka abadde yabula okuva ewaka okumala ebbanga kimuweddeko bw’asanze bakadde be nga bali ku malaalo bamusabira Bakadde be baali bamanyi nti yafa oluvanyuma lw’okuweebwa omulambo gw’omuvubuka gwebasanga ku kkubo ng’atandise okuvunda ate nga mu biseera ebyo owaabwe yali yamubula era baziikamu oyo Okuva olwo babadde […]