Amawulire

Aba DP batabuse ku Lukwago ne Besigye

Ali Mivule

November 21st, 2013

No comments

mao

Abavubuka b’ekiwayi kya Uganda young democrats bavumiridde engeri  Dr Kiiza Besigye ne  Erias Lukwago gyebakwatiddwamu,nebatuuka n’okubeera mu makomera nga tebamanyi misango gibavunaanwa.

Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ,ssabawandiisi wekibiina kino , Charles Wasswa agambye nti  kino kyabadde tekyetagisa kubanga abakulembeze bano tebaakoze ffujjo lyonna nga bakwatibwa.

Ono agamba nti nate bagenda kutandika ku kwefube ow’okunoonya emikono egigoba ba kansala abalondeddwa abapya

Bino webigyidde nga abasibe okuli Dr Col Kiiza Besigye ne loodimeeya, bali mu kkooti ya Buganda road okusomerwa emisango gy’ebazza mu mwaka oguwedde.