Amawulire

Aba USAFI empooza ebalemye

Ali Mivule

November 11th, 2013

No comments

USAFI mkt

Abasuubuzi abakolera mu katale ka Usafi empooza ya buli mwezi ebazitoweredde nga abamu bagaala kwabuulira katale kano.

Abasinga ku bakolera mu katale kano beebasuubuzi abali ku nguudo wabula nga kati ebintu bibasobodde olw’empooza egaanye nga ate abaguzi ba lubatu mu katale kano.

Abasuubuzi bano basasula empooza ya mitwaalo munaana omwezi,okwo kw’ossa amazzi n’amasanyalaze.

Wabula ye omwogezi w’akatale kano  Muhammad Ssegwanyi agamba bugumikiriza bwokka akatale kano kakukyaakaka esaawa yonna kubanga kali walungi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *