Ebyemizannyo

Okubaka- She cranes yesozze enkambi

Ali Mivule

November 11th, 2013

No comments

She cranes

Team y’abakyaala ey’okubaka eya SHE Cranes eyitiddwa okutandika okutendekebwa olunaku lwa leero nga tenagenda mu ggwanga lya Singapore ku nkomerero y’omwezi guno.

Team eno erimu abazanyi 18 era nga bagenda kwetaba mu kikopo ky’amawanga omukaaga  eky’omuzanyo gw’okubaka.

Uganda eggulawo n’eggwanga lya America nga 1st omwezi gujja wabula ye omuwandiisi w’ekibiina ekikulembera omuzanyo gw’okubaka wano mu ggwanga, Annet Kisomose ategeezezza ng’esuubi mu gavumenti  okubawa ensimbi basobole okugenda e Singapore.

Mu kiseera kyekimu ,wakyaliwo okukubagana empawa kw’ani agenda okutendeka tiimu y’eggwanga eno.

Kati abakungu batunuulidde Nelson Bogere ne Mubiru Rashid nga omu ku bano gwebagenda okulangirira  olunaku lwaleero.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *