Amawulire

Muntu ayimirizza kampeyini ze

Muntu ayimirizza kampeyini ze

Ali Mivule

July 9th, 2015

No comments

Akulira ekibiina kya FDC Maj Gen Mugisha Muntu asazizzaamu okukuba enkungaana ze eziwenja akalulu okutuuka nga Dr Kiiza Besigye ayimbuddwa era nebakakasa nti taddemu kukwatibwa Besigye akwatiddwa enkya ya leero okuva mu maka ge e Kasangati nga yetegekera okugenda okutongoza kampeyini ze ku kisaawe kye […]

Abavubuka ba Mbabazi bakwatiddwa- Bannabyabufuzi batadde akaka

Ali Mivule

July 9th, 2015

No comments

Waliwo ekibinja ky’abavubuka ba NRM ekirumbye poliisi ye Kiira e Kamwokya nga kyagaala eyali ssabaminisita Amama Mbabazi ayimbulwe Abavubuka bano abeeyita abatalina mirimu babadde era bagaala kulaba ku Mbabazi nebagaanibwa Mu kavuvungano akabaddewo abavubuka 11 bakwatiddwa  nga ku bano babiri bawala.   Yye nno Mbabazi […]

Abazadde abatunda omwana eri abasajja bakwatiddwa

Ali Mivule

July 9th, 2015

No comments

Poliisi mu kibuga Kerala mu ggwanga lya Buyindi poliisi eriko abazadde bekutte lwakutunda muwalawe  ow’emyaka 13 eri abasajja okumukozesa mu nsonga z’omukwano. Omuwala ono ategezezza nga bazadde be bwebabadde bafuna ssente okuva eri agasajja gakagwensonyi negamuddako okumukabasanya. Agasajja gano gabadde gasasula rupees 3000 okwetasiza ku […]

Kusaasira ayimbuddwa

Ali Mivule

July 9th, 2015

No comments

Omuyimbi wa golden Band Catherine Kusaasira kyaddaaki ayimbuddwa. Kusaasira yeeyimiriddwa ku kakalu ka kkooti ka mitwalo 50 ezabuliwo ate abamweyimiridde ababiri buli omu asaliddwa obukadde 50 ezitali zabuliwo. Abamweyimiridde kubaddeko akulira ekibiina ekigatta abayimbi nebannakatemba Andrew Benon Kibuuka ssaako ne ssentebe wa LC esooka Entebbe […]

KCCA eggadde Shoprite

Ali Mivule

July 9th, 2015

No comments

Ab’e kitongole kya KCCA abakola ku by’obulamu bagadde ekifo by’eby’emmere mu supamaketi ya Shoprite. Ekifo kino kigaddwa oluvanyuma lw’abalondoola ebyobulamu mu KCCA okusanga ng’ekifo kino kijama nga tewasaana kuva kyakulya kiriibwa bantu. Omwogezi wa KCCA  Peter Kauju  agamba bazze balabula abatwala ekifo kino okutereeza obuyonjo […]

Omukago gw’abavuganya guboggodde

Ali Mivule

July 9th, 2015

No comments

Ab’omukago gw’ebibiina ebivuganya gavumenti ogwa  Democratic Alliance bavumiridde okukwatibwa kwa Mbabazi ne Besigye. Mu kiwandiiko kyebafulumizza olwaleero, balumiriza gavumenti ya NRM okukozesa poliisi okutuukiriza ebigendererwa byayo. Ekiwandiiko kino kisomeddwa ssenkaggale w’ekibiina kya JEEMA Asuman Basalirwa ategezezza nga poliisi bw’esanye okwewalira ddala okumenya amateeka . Basaalirwa […]

Bannamwulire balabuddwa

Ali Mivule

July 9th, 2015

No comments

Akakiiko k’ebyempuliziganya aka Uganda communications commission kavuddeyo nekalabula emikutu gy’amawulire gyonna ku kufulumya amawulire mu ngeri y’ekikugu okwewala okuwabya abantu naddala mu biseera bino nga tusemberera okulonda kwa 2016. Mu kiwandiiko ekifulumye, akulira akakiiko kano  Godfrey Mutabaazi ategezezza nga buli mukutu bwegusanye okufulumya amawulire agatukiridde […]

Loodibulooka ku makubo

Ali Mivule

July 9th, 2015

No comments

Poliisi ekyayiriddwa ku makubo agagenda e Mbale. Oluguudo lw’e  Mbale-Tirinyi okutuuka e Iganga poliisi etaddewo emisanvu 3 ku lutindo lw’okumugga Mpologoma, e Budaka ne  Naboa. Mungeri yeemu poliisi eriko abantu 6 b’ekutte ababadde batambulira mu mmotoka ya  Toyota highlander UAT 916G nga babadde n’ebifananayi bya […]

Abasuubuzi e Mbale tebakoze

Ali Mivule

July 9th, 2015

No comments

Mu kibuga  y’e Mbale amaduuka agasinga gakyali maggale nga abagakolamu abasinga baasazewo besigalire ewaka nga batya nti akavuyo kandibalukawo essaawa yonna. Abamu batudde wabweru w’amaduuka gaabwe beerasiza luboozi. Tukitegeddeko nti n’abatunzi b’ebirime baganye okutwalayo ebirime byabwe nga batya okufiirizibwa. Ate ku siteegi za bodaboda, Taxi […]

Sejusa akyalidde Mbabazi- bakyagaanye okumuta

Ali Mivule

July 9th, 2015

No comments

Negyebuli kati, bannamateeka b’eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi bakyalwana okulaba nti ava ku poliisi Kiira gyeyaggaliddwa Bino bikakasiddwa munnamateeka we Fred Muwema agamba nti omuntu we tebannaba kumuta. Kyokka Muwala we Nina Mbabazi yeeyasoose okutegeeza eggwanga lya kitaawe bweyabadde ateereddwa ku kakalu ka poliisi. Mbabazi […]