Amawulire

Sejusa akyalidde Mbabazi- bakyagaanye okumuta

Ali Mivule

July 9th, 2015

No comments

Negyebuli kati, bannamateeka b’eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi bakyalwana okulaba nti ava ku poliisi Kiira gyeyaggaliddwa

Bino bikakasiddwa munnamateeka we Fred Muwema agamba nti omuntu we tebannaba kumuta.

Kyokka Muwala we Nina Mbabazi yeeyasoose okutegeeza eggwanga lya kitaawe bweyabadde ateereddwa ku kakalu ka poliisi.

Mbabazi yakwatiddwa amakya galeero wali e Njeru bweyabadde agenda e Mbale mu lukiiko lw’okwebuuza ku balonzi be ng’ateekateeka okwesimbawo ku bwa pulezidenti.

Aduumira ebikwekweto bya poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi ategezezza nga bwebakutte Mbabazi okwewala okuleeta akavuyo e Mbale kubanga abadde tagoberedde mateeka ku kwebuuza kuno.

Mu ngeri yeemu muwala wa Mbabazi Racheal Mbabazi y’omu kwabo abakwatiddwa era abakyakuumibwa ku poliisi ye Lugazi.

Eby’okwerinda byamanyi nyo mu tawuni y’e Lugazi nga era oluguudo luno lusoose kuggalwa ekiseera ekigere.

Mbabazi akyaaliddwa abantu abatali bamu kyokka nga poliisi tebakkiriza kumulaba.

Muno mwemubadde eyali akulira bambega b’amaggye Gen David Sejusa agamba nti okukwatibwa kwa Mbabazi buwanguzi obutuukiddwaako abo bonna abagaala enkyukakyuka

Sejusa agambye nti okukwata Mbabazi kulaga nti embeera mu ggwanga etabuse nga tewakyaali Muntu yenna awulirizibwa

Kati Sejusa ayoolekedde Naggalama Besigye gy’aggaliddwa

Mu balala abagenze okulaba Mbabazi kwekuli mukyala we Jackie Mbabazi nga yye akkiriziddwa kyokka ng’abalala nga Hope Mwesigye, Geoffrey Ekanya ne Sam Otada bagaaniddwa.