Amawulire

Besigye akwatiddwa

Besigye akwatiddwa

Ali Mivule

July 9th, 2015

No comments

Eyali ssenkaggale w’ekibiina kya FDC Dr. Kiiza Besigye naye akwatiddwa. Besigye akwatiddwa nga yakava mu makage e Kasangati okukuba kampeyini ye esooka ku ky’okukwatira ekibiina kye bendera mu kulonda kwa pulezidenti okwa 2016. Omuwandiisi w’okukubiriza banakibiina  Ingrid Turinawe akakasizza okukwatibwa kwa Besigye. Besigye abadde asuubirwa […]

Mbabazi akwatiddwa

Mbabazi akwatiddwa

Ali Mivule

July 9th, 2015

No comments

Eyali ssabaminisita w’eggwanga John Patrick Amama Mbaabzi akwatiddwa poliisi ku lutindo lwa Kiyira e Jinja. Okukwatibwa kwa Mbabazi kukakasiddwa aduumira ebikwekweto bya poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi atyegezezza nga Mbaabzi bweyamulabudde obutageza kugenda Mbali kyanyomodde.   Mbabazi abadde agenda Mbale kwebuuza ku balonzi be […]

Mbabazi asimbudde okwolekera Mbale

Mbabazi asimbudde okwolekera Mbale

Ali Mivule

July 9th, 2015

No comments

Eyali ssabaminista Amama Mbabazi asitudde okwolekera Mbale yadde nga poliisi yamulabudde obutakigeza. Mbabazi ali mu motoka kika kya Benz era ng’awerekeddwaako endala gyebamukelera mu kitiibwa kye ng’eyali ssabaminisita. Bannayuganda abasinga batunudde nkaliriza okulaba oba eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi anatuukiriza eky’okugenda mu bitundu bye Mbale […]

Abakyala boogedde byebagaala mu kulonda

Abakyala boogedde byebagaala mu kulonda

Ali Mivule

July 9th, 2015

No comments

Nga buli omu yetegekera akalulu ka 2016 abakyala nabo tebasigadde mabega era bavuddeyo ne manifesito yeebyo byebaagala okuva eri abesimbyewo mu kulonda kwa bonna okwa 2016. Manifesito eno baagikoze oluvanyuma lw’okwebuuza ku by’obufuzi nga era ezingiramu ebibiina by’obufuzi byonna. Akulira ekibiina kya  Uganda Women’s Network […]

Poliisi esazeeko amaka ga Dr Besigye

Poliisi esazeeko amaka ga Dr Besigye

Ali Mivule

July 9th, 2015

No comments

Poliisi esazeeko amaka g’eyali  senkaggale w’ekibiina kya FDC  Dr. Kiiza Besigye . Agava e Kasangati galaga nga poliisi bw’ezibye amakubo gonna agadda e wa Besigye nga ono abadde asuubirwa okutongoza kampeyini ze ez’okukwatira ekibiina kya FDC bendera mu kulonda kwa pulezidenti okw’omwaka ogujja nga olweggulo […]

Amerika yeeganye Mbabazi

Amerika yeeganye Mbabazi

Ali Mivule

July 8th, 2015

No comments

Ekitebe kya America mu Uganda kyegaanye ebigambibwa nti kyakanze okujjako Uganda obuyambi ssinga gavumenti emala n’eremesa eyali ssabaminisita Amama Mbabazi okwebuuza ku balonzi. Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa omubaka wa Amerika mu Uganda Scot Delisi,Amerika agambye nti terina Muntu gw’ewagira mu kalulu akajja nga bannayuganda beebalina okwelondera […]

Omusumba eyegaana omwana, bimukalidde ku matama

Omusumba eyegaana omwana, bimukalidde ku matama

Ali Mivule

July 8th, 2015

No comments

Omusumba w’abalokole Job  Enawule Olusegun  owa Rescue Mission Church e Wandegeya Kimwanyi zone  akubiddwa mu mbuga z’amateeka lwakugaana kulabirira mwana gweyazaala ebbali w’obufumbo. Pasita Enawule nga munansi wa Nigeria asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka ku City Hall Moses Nabende. Gyebuvudeko  omusumba ono  yawakanya  ebyava […]

Aba taxi bazzeemu okulwana

Aba taxi bazzeemu okulwana

Ali Mivule

July 8th, 2015

No comments

  Abakulembeze b’abagoba ba Taxi wansi w’ekibiina ekirwanirira eddembe lyaabwe balayidde okugenda mu maaso n’okwebuuza ku ba dereeva ku bizibu byebasanga Bano olwaleero lwebasoose okugezaako okukikola kyokka nebalumbibwa ekibinja ky’abantu abatanaba kutegerekeka abalwanye okukkakkana nga basatu bayiika musaayi. Aba Taxi bagamba ekibinja kya Yassin Sematimba […]

Ababaka abatateesa tebasasulwa- bannakyeewa

Ababaka abatateesa tebasasulwa- bannakyeewa

Ali Mivule

July 8th, 2015

No comments

Omukago ogulwanyisa obuli bw’enguzi obwa Anti–Corruption Coalition of Uganda gwagaala ababaka ba palamenti batandike kusasulwa okusinziira ku nnaku zebabeera mu palamenti ya wamu. Akulira omukago guno Cissy Kagaba y’akulembeddemu bannakyeewa abeekubidde enduulu eri akakiiko akakola ku nsonga za palamenti Kagaba agambye nti yadde sipiika afubye […]

Mulago lifuti zeesibye- omuntu afudde

Mulago lifuti zeesibye- omuntu afudde

Ali Mivule

July 8th, 2015

No comments

Embeera mu ddwaliro e Mulago eyongera kutabuka nga kati ne lifiti zifudde Mu kadde kano abalwadde abali obubi beebasinze okukosebwa nga balina okwambuka amadaala kyokka nga kati n’emirambo giyisibwa mu bantu. Omwogezi w’eddwaliro lye Mulago Enock Kusaasira agambye nti bino byonna bivudde ku kuddabiriza ddwaliro […]