Amawulire

Atomeddwa motoka n’afiirawo

Atomeddwa motoka n’afiirawo

Ali Mivule

July 8th, 2015

No comments

Mu disitulikiti ye sembabule waliwo omusajja ow’emyaka 35 atomeddwa mmotoka emutiddewo yo n’ebulawo. Isaac Matovu  omutuuze ku kyalo Lugusulu v y’atomeddwa mmotoka etategerekese namba ebadde eva e Lugusuulu nga edda Kyabi. Okusinziira ku berabiddeko n’agaabwe, Matovu atomeddwa nga asala oluguudo bw’abadde ava ku dduuka . […]

Katikkiro ali mu Buddu

Katikkiro ali mu Buddu

Ali Mivule

July 8th, 2015

No comments

Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akubirizza abantu ba ssabasajja okulekerawo okukaaba ebizibu wabula bakole okusobola okwekulakulanya. Bino Katikkiro abyogeredde mu ssaza lye Buddu gy’abadde akunganya ettoffaali ng’eno yakunganyizza obukadde obusoba mu 50. Mungeri yeemu Katikiro atabukidde bannabyabufuzi abafuuse kyesirikidde ku nsonga za Buganda sso […]

Amerika erumbiddwa ku bisiyaga

Amerika erumbiddwa ku bisiyaga

Ali Mivule

July 8th, 2015

No comments

Ssabalabirizi w’e kanisa ya Uganda  Stanley Ntagali avumiridde ekya kkooti ya Amerika eyokuntikko okuzza ensonga y’obufumbo mu kugikubako akalulu nebatuuka n’okukkiriza abasiyazi okwetaaya. Mukiwandiiko kye , Ntagali ategezezza nga obufumbo bwebwagerekebwa okuva eri mukama Katonda kale nga kikyamu ate abantu okukuba akalulu ku nsonga eno […]

Mbabazi asisinkanye Museveni ku by’enkiiko ze

Mbabazi asisinkanye Museveni ku by’enkiiko ze

Ali Mivule

July 8th, 2015

No comments

Tukitegeddeko nti pulezidenti Museveni akkakkanye n’asisinkana n’eyali Ssabaminisita Amama Mbabazi. Museveni yeeyayise Mbabazi ku nsonga z’okulemera ku nsonga z’okwebuuza ku bantu ku ky’okwesimbawo mu mwaka ogujja. Kigambibwa okuba nti pulezidenti Museveni kyaddaaki yakkirizza enkiiko za Mbabazi zigende mu maaso. Munnamateeka wa Mbabazi Fred Muwema akkirizza […]

Temukkiriza kubagattika- Amelia Kyambadde

Temukkiriza kubagattika- Amelia Kyambadde

Ali Mivule

July 7th, 2015

No comments

Minisita w’ebyobusuubuzi Amelia Kyambadde asabye abakyala okuvumirira ensonga ebibaluma mu kifo ky’okusirika Ng’ayogerako eri abakyala ba palamenti, Kyambadde agambye nti abakyala balina okuvumirira ebintu omuli eky’okubagattika kko n’okusobya ku baana. Agambye nti abakyala bangi tebakkiririza mu basajja kuwasa bakyala balala kyokka nga basirika gyebigweera nga […]

Tolina gy’olaga- poliisi eri Mbabazi

Tolina gy’olaga- poliisi eri Mbabazi

Ali Mivule

July 7th, 2015

No comments

Poliisi ezzeemu okukinogaanya nti tejja kukkiriza eyali ssabaminisita Amama Mbabazi okwebuuza ku bantu ku by’okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga Olwaleero bannamateeka ba Mbabazi nga bakulembeddwaamu Fred Muwema basiibye mu kafubo ne poliisi okubanyonyola tteeka ki lyebaba bamenye Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti bagaala bbaluwa […]

Abasajja bakuwasa asukka mu omu mu kenya

Abasajja bakuwasa asukka mu omu mu kenya

Ali Mivule

July 7th, 2015

No comments

Omukulembeze w’eggwanga lya Kenya assizza omukono ku tteeka erikkiriza okuwasa omukyala asukka mw’omu Etteeka lino likkiriza enkola y’ennono ekkiriza abasajja okusajjalaata Mu kusooka etteeka lino lyawakanyizibwa nnyo ababaka abakyala abaali bakiwakanya kyokka nga bbo abasajja bagamba nti kirungi era kijja kukendeeza ku bwenzi Mu tteeka […]

Aba BatValley bewozezzaako

Aba BatValley bewozezzaako

Ali Mivule

July 7th, 2015

No comments

Abaddukanya essomero lya Batvalley Primary school bawakanyizza ebigambibwa nti okusabira mu kifo kino kukosa ebyenjigiriza Ng’alabiseeko mu kakiiko akanonyereza ku kibbattaka ly’amasomero mu kibuga, akulira essomero lino Dr Rajni Tailor agambye nti bapangisa ekizimbe omukubwa enkungaana eri omusumba Aloysius Bugingo okusobola okufuna ku nsimbi Tailor […]

Bankaka okulya embizi- agambibwa okutega bbomu

Bankaka okulya embizi- agambibwa okutega bbomu

Ali Mivule

July 7th, 2015

No comments

Omu ku bagambibwa okutega bbomu ezatta abantu abasoba mu 70 akubye omulanga mu kkooti ng’anyonyola okutulugunya okwamutusibwaako. Hassan Haruna Luyima agambye nti bamutulugunya nebatuuka n’okumuliisa embizzi nga bagaala akkirize nti yeeyatega bbomu ze Kabalagala. Omusajja ono agambye nti batuuka n’okumwambula nga bamukanga okulya embisiyaga kyokka […]

Gavumenti eyambe ku mafuta

Ali Mivule

July 7th, 2015

No comments

Ababaka ba palamenti balaze obwenyamivu olw’ebbeeyi y’amafuta ekalaamuse Mu kadde kano amafuta gatuuse ku shs 3900 ku masundiro amanene nga Total ate ng’amasundiro amatonotono gatunda 3500 petulooli Omubaka Micheal Mawanda agamba nti waliwo obwetaavu bwa gavumenti okuyingira mu nsonga zino mu bwangu ddala okutaasa bannayuganda. […]