Amawulire

Bankaka okulya embizi- agambibwa okutega bbomu

Bankaka okulya embizi- agambibwa okutega bbomu

Ali Mivule

July 7th, 2015

No comments

Omu ku bagambibwa okutega bbomu ezatta abantu abasoba mu 70 akubye omulanga mu kkooti ng’anyonyola okutulugunya okwamutusibwaako.

Hassan Haruna Luyima agambye nti bamutulugunya nebatuuka n’okumuliisa embizzi nga bagaala akkirize nti yeeyatega bbomu ze Kabalagala.

Omusajja ono agambye nti batuuka n’okumwambula nga bamukanga okulya embisiyaga kyokka nga yyo embizzi bagimuliisa ku mpaka.

Luyima abadde yenyonyolako ku sitatimenti gyeyakola ng’akkiriza nti yeeyatega bbomu ng’eno yagikolera mu maaso g’eyali omulamuzi wa kkooti ye Nakawa Agnes Nabafu.

Wabula omulamuzi asazeewo nti sitatimenti eno essibwe ku bujulizi obuleeteddwa oludda oluwaabi.

Ssabbiiti ewedde, omulamuzi Agnes Nabafu yakkiriza nti yakozesa Luyima sitatimenti.

Okuwulira omusango kuddamu ku lw’okubiri olujja mu maaso g’omulamuzi Alfonse Owiny Dollo.

Abantu 13 beebavunaanibwa okutega bbomu zino ezatta abantu abasoba mu 70 ku Kyadondo grounds ne Ethiopian Village restaurant e Kabalagala.