Amawulire

Amerika erumbiddwa ku bisiyaga

Amerika erumbiddwa ku bisiyaga

Ali Mivule

July 8th, 2015

No comments

File Photo: Obama nga ayogeera

File Photo: Obama nga ayogeera

Ssabalabirizi w’e kanisa ya Uganda  Stanley Ntagali avumiridde ekya kkooti ya Amerika eyokuntikko okuzza ensonga y’obufumbo mu kugikubako akalulu nebatuuka n’okukkiriza abasiyazi okwetaaya.

Mukiwandiiko kye , Ntagali ategezezza nga obufumbo bwebwagerekebwa okuva eri mukama Katonda kale nga kikyamu ate abantu okukuba akalulu ku nsonga eno emanyiddwa obulungi nti omusajja awasa mukyala sso ssi bantu bakikula kimu kuwasagana.

Omwezi oguwedde kkooti mu Amerika y’asalawo okuwa abasiyazi eddembe lyabwe mu masaza gonna bwebategeza nti buli Muntu alina eddembe ly’okwesalirawo omuntu gw’alina okuwasa oba musajja ku musajja n’abakyala bwebatyo.

Kanisa ya Uganda yekutula ku kanisa enkulu mu Amerika lwakukyuusa mateeka ku bufumbo.