Amawulire

Sigambangako nti sijja kwesimbawo- Besigye

Sigambangako nti sijja kwesimbawo- Besigye

Ali Mivule

July 6th, 2015

No comments

Dr Kiiza Besigye asabye omuntu yenna alina obujulizi nti yagamba nti tajja kuddamu kwesimbawo okubuleeta. Ono agamba nti azze akinogaanya nti ssiwakwesimbawo ng’enongosereza mu mateeka tezinnayita kyokka ng’atandise okufuna essuubi kubanga zino ziri kati mu palamenti Guno gujja kuba gwakuna nga Besigye yesimbawo ku bukulembeze […]

Ababiri bafiiridde mu kabenje akalala e Nakirebe

Ali Mivule

July 4th, 2015

No comments

Abantu babiri bafiiridde mu kabenje akalala akagudde e Nakirembe ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka Abantu abalala mukaaga bafunye ebisago ebyamaanyi nga baddusiddwa ku ddwaliro lya Mpigi health center nga bali mu mbeera mbi. Ababiri bano babadde batambulira mu motoka kika kya  Prado […]

Nze sivuganya Museveni- Mbabazi

Ali Mivule

July 4th, 2015

No comments

Eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi agamba nti ye tavuganya pulezidenti Museveni. Mbabazi agamba nti yye yalangirira nteekateeka ya kwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga nga tewali ngeri gy’ayinza kuba ng’avuganya pulezidenti Museveni atalangirirangako nti wakwesimbawo. Ono era agambye nti ky’ayagala kwekutuukiriza ebikyagaanye okutuukirira kyokka ng’atenderezza pulezidenti Museveni […]

25 bafiiridde mu bulumbaganyi

Ali Mivule

July 4th, 2015

No comments

Abantu 25 bafiridde mu bulumbanganyi obukoleddwa ku muzikiti mu ggwanga lya Syria. Ekitongole kya Bungereza ekirwanirira edembe ly’obuntu mu ggwanga lya Syria kitegeezezza nti waliwo abantu abalala abawerako abalumiziddwa mu bulumbaganyi buno. Obulumbaganyi buno bukoleddwa ng’abasiramu bagenze mu muzikiti guno okusibulukuka. Wabula negyebuli kati abakoze […]

Abatuuze baggadde oluguudo

Ali Mivule

July 4th, 2015

No comments

Abatuuze  ku kyalo Sakabusolo  mu  gombolola ye Buwama  mu disitulikiti ye Mpigi bazibye oluguudo oluva e Butambala okudda e Mpigi nga bagamba nti abakulembeze ku gombolola balemereddwa okulukola. Abasubuzi abatwala ebyamaguzi  mu butale omuli Kamengo, Mpigi ne Buwama beebasinze okukosebwa. Abatuuze bagamba nti oluguudo luno […]

Munnamateeka Kasango bamuwenja

Ali Mivule

July 4th, 2015

No comments

Poliisi eri ku muyiggo gwa munnamateeka omututumufu mu kampala Bob Kasango. Kasango avunaanibwa kwezibika obuwumbi 15 Omwogezi wa poliisi Fred Enanga sagambye nti Kasango yayimbuddwa poliisi y’oku luguudo lwe Kira era nga yalina okuddayo ku poliisi kyokka nga guno gujwa, talabikako Enanga agamba nti ono […]

Okwegatta geemaanyi

Ali Mivule

July 4th, 2015

No comments

Eyali omukwanaganya w’ebitongole bya gavumenti ebikeesi Gen David Ssejusa olunaku lw’eggulo yasobodde okukuba poliisi ekimooni neyetaba ku lukungana lw’abavubuka ba FDC e Masaka. Mu lukungana olwategekeddwa ku kitebe kya FDC e Masaka, Ssejusa yasabye ebibiina ebivuganya gavumenti okukolera awamu okusobola okuwangula pulezidenti Museveni. Sejusa yategeezezza […]

Pulezidenti Museveni atenderezza Nyerere

Ali Mivule

July 4th, 2015

No comments

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni atendereza omulimu ogwakolebwa eyali omukulembeze w’eggwanga lya Tanzania Muwalimu Julius Nyerere mu kuwagira abayeekera abali balwanyisa obukulembeze bwa nakyemalira Idi Dada. Museveni okusiima kuno yakukoze mu kuziika omugenzi Johnson Nyinondi eyayamba ekibiina kya FRONASA, mu kulwanyisa Amin. Mu kwogerako eri abafiirwa […]

Abafumbo abamaze emyaka 75 bafudde babiri

Abafumbo abamaze emyaka 75 bafudde babiri

Ali Mivule

July 3rd, 2015

No comments

Abafumbo abamaze emyaka 75 nga bali wamu basangiddwa mu buliri nga bafudde babiri Jeannete ow’emyaka 96 Toczko afudde ne Bba ow’emyaka 95  Alexander nga bukwataganye mu ngalo Bano bamu kibuga San Diego ekya California nga basisinkana ba myaka 8 nebafumbirwa mu mwaka gwa 1940 nebazaala […]

Abagambibwa okutta Sheikh Kiirya bakwatiddwa

Abagambibwa okutta Sheikh Kiirya bakwatiddwa

Ali Mivule

July 3rd, 2015

No comments

Poliisi y’ensi yonna wano mu ggwanga wamu n’abatwala eby’okwerinda mu eggwanga lya  Kenya, batandise okwekenenya amawulire agalaga nti waliwo abasajja 2 bakwatiddwa nga bateberezebwa okutta Shiekh Hassan Kirya. Okusinzira ku mawulire okuva mu ggwanga lya Kenya, abakwatiddwa kuliko Malcom Lukwiya ne Emmanuel Oneka nga bakwatibwa […]