Amawulire

Nze sivuganya Museveni- Mbabazi

Ali Mivule

July 4th, 2015

No comments

Eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi agamba nti ye tavuganya pulezidenti Museveni.

Mbabazi agamba nti yye yalangirira nteekateeka ya kwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga nga tewali ngeri gy’ayinza kuba ng’avuganya pulezidenti Museveni atalangirirangako nti wakwesimbawo.

Ono era agambye nti ky’ayagala kwekutuukiriza ebikyagaanye okutuukirira kyokka ng’atenderezza pulezidenti Museveni olw’okutwala eggwanga mu maaso.

Ono agambye nti tewali kubuusabuusa wakubeera mu lwokaano lwa 2016 kabe lubaale oba katonda

Yyo poliisi e Kumi ezinzeeko amaka ga sipiika wa disitulikiti nga bamutebereza okubeera n’emijoozi gy’eyali ssabaminisita Amama Mbabazi.

Victor Opeede ategeezezza nga poliisi bweyatuuse mu maka ge ku ssaawa kkumi na bbiri ez’okumakya  n’egaana omuntu yenna okufuluma oba okuyingira

Ono agambye nti oluvanyuma lw’okwaaza amaka ge, abasirikale basimbudde nebagenda nga tebalina kyabazudde

Opeede avumiridde ekikolwa kino n’ategeezebwa nga bwekitetaagisa

Wabula yye atwala poliisi ye Kumi Obingu Onzi bino abyegaanye

Bbo abawagizi ba Mbabazi ababiri abakwatiddwa bakyali mu mikono gya poliisi

Mbabazi yalangirira nti wakusooka mu bitundu by’eno mu kwebuuza ku bantu ku nteekateeka ze ez’okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga omwaka ogujja