Amawulire
Temukkiriza kubagattika- Amelia Kyambadde
Minisita w’ebyobusuubuzi Amelia Kyambadde asabye abakyala okuvumirira ensonga ebibaluma mu kifo ky’okusirika
Ng’ayogerako eri abakyala ba palamenti, Kyambadde agambye nti abakyala balina okuvumirira ebintu omuli eky’okubagattika kko n’okusobya ku baana.
Agambye nti abakyala bangi tebakkiririza mu basajja kuwasa bakyala balala kyokka nga basirika gyebigweera nga bafunyeemu endwadde oluusi n’okufa
Ono agamba nti keekadde abakyala bakandule ku maloboozi