Amawulire

Ababaka abatateesa tebasasulwa- bannakyeewa

Ababaka abatateesa tebasasulwa- bannakyeewa

Ali Mivule

July 8th, 2015

No comments

File photo: Ababaka ba Palimenti

File photo: Ababaka ba Palimenti

Omukago ogulwanyisa obuli bw’enguzi obwa Anti–Corruption Coalition of Uganda gwagaala ababaka ba palamenti batandike kusasulwa okusinziira ku nnaku zebabeera mu palamenti ya wamu.

Akulira omukago guno Cissy Kagaba y’akulembeddemu bannakyeewa abeekubidde enduulu eri akakiiko akakola ku nsonga za palamenti

Kagaba agambye nti yadde sipiika afubye okulabula ababaka ku butateesa , byonna tebikola nga keekadde omusaala gukwatibweeko

Asabye nti ennaku ababaka zebabeera mu palamenti zibalibwe era ensimbi zitabaweebwa zisindikibwe mu bitundu gyebava okubikulakulanya.

Emirundi mingi sipiika omukyala Rebecca Kadaga yemulugunyizza ku babaka abepena entuula nga basiiba mu byaalo gyebava nebezza emirimu gy’abakulembeze b’ebitundu.

Wabula yye omubaka omukyala owe Rose Akol Okullo,agambye nti bannakyeewa balina okumanya nti kuteesa mu palamenti si gwemulimu gwokka ogw’omubaka wa palamenti.