Amawulire

Abavubuka ba Mbabazi bakwatiddwa- Bannabyabufuzi batadde akaka

Ali Mivule

July 9th, 2015

No comments

Waliwo ekibinja ky’abavubuka ba NRM ekirumbye poliisi ye Kiira e Kamwokya nga kyagaala eyali ssabaminisita Amama Mbabazi ayimbulwe

Abavubuka bano abeeyita abatalina mirimu babadde era bagaala kulaba ku Mbabazi nebagaanibwa

Mu kavuvungano akabaddewo abavubuka 11 bakwatiddwa  nga ku bano babiri bawala.

 

Yye nno Mbabazi negyebuli kati akyagaanye okukola sitatimenti ku poliisi gyeyatwaliddwa okuva ku makya

Okusinziira ku munnamateeka we Fred Muwema , omuntu waabwe talina musango gw’azizza nga tewali nsonga lwaki akola sitatimenti.

Muwema agambye nti bakusirika olwo yyo gavumenti Mbabazi emugguleko emisango gy’eyagala

Bbo bannabyabufuzi bakyesitula okukyalira ku Mbabazi kyokka nga batono abakkiriziddwa okumulaba.

Omu ku bano ye mubaka Medard Lubega Ssegona avumiridde ekya Mbabazi okukwatibwa.

 

Eyali akulira bambega b’amaggye Gen David Sejusa agambye nti okukwatibwa kwa Mbabazi kwaali kusuubirwa

Ng’ayogerera ku poliisi ye Kiira, Sejusa agambye nti yakitegeera nti ono wakutuntuzibwa okuva lweyasonga mu ntebe y’omukulu.

Agambye nti okukwatibwa kwa Mbabazi mawulire ga buwanguzi eri abo bonna abatawagira gavumenti ya NRM.

Sejusa agambye nti NRM yandikozesezza kkooti okulemesa Mbabazi mu kifo ky’okukozesa poliisi.

Abalala abakyalidde Mbabazi kuliko Sam Otada, Geoffrey Ekanya n’eyali minisita Hope.

Yye muka Mbabazi Jaqueline Mbabazi, agamba nti tewali nsonga lwaki bba akwatiddwa