Amawulire

Eyatta omupoliisi asingisiddwa omusango

Eyatta omupoliisi asingisiddwa omusango

Ali Mivule

July 14th, 2015

No comments

Kkooti enkulu esingisizza  Edson Wako omusango gw’okutta omuserikale wa poliisi  John Michael Ariong during the 2012 walk to work riots. Omulamuzi Elizabeth Alividza  y’asingisizza  Wako omusango guno oluvanyuma lw’abajulizi 2 okutegeeza nga bwebamulaba nga akuba omuserikale Ariong bulooka ku mutwe ku luguudo lwa Ben Kiwanuka […]

Amasanga gakwatiddwa

Ali Mivule

July 14th, 2015

No comments

Poliisi eriko bokisi z’amasanga g’enjovu 48 gekwatidde ku kisaawe ky’enyonyi Entebbe. Amasanga gano gasangiddwa nga gazingiddwa mu kaveera nga kungulu kubikiddwako obubaawo. Poliisi etegezezza nga amasanga gano bwegabadde gatwalibwa mu ggwanga lya Singapore nga gabadde gaakutikibwa ku nyonyi ya Kampuni ya Ethiopian airlines. Aduumira poliisi […]

Abawera bajjeeyo foomu

Ali Mivule

July 14th, 2015

No comments

Abaagala okwesimbawo ku tikiti y’ekibiina kya NRM batandise okugyayo foomu z’okwesimbawo ku bifo ebyenjawulo wali ku kitebe ky’ekibiina ku luguudo lwe Kyaddondo. Abakajjayo foomu zino kuliko omubaka wa Mawokota South Amelia Kyambadde, Singh Katongole  ku kifo ky’omubaka wa Rubaga North, Juuko Nakalanzi Maria  ku ka […]

Omulambo ogubaddeko enjaga

Ali Mivule

July 14th, 2015

No comments

Poliisi ekyagenda mu maaso n’okwekenenya omulambo gw’omusajja ogusangiddwamu emisokoto gy’enjaga amakumi ana nga eweramu kitundu kya kilo. Enjaga eno ebalirirwamu obukadde bwa siringi ebikumi bibiri  ze doola za Amerika emitwalo mukaaga. Omwogezi wa poliisi mu ggwanga  Fred Enanga ategezezza nga omugenzi atemera mu gy’obukulu nga […]

Aba NRM bakubaganye empawa ku nsimbi

Aba NRM bakubaganye empawa ku nsimbi

Ali Mivule

July 14th, 2015

No comments

  Abamu ku babaka ba palamenti okuva mu kibiina kya NRM  bakyakubagana empawa ku nsimbi ezagerekeddwa ekibiina kyabwe eri oyo yenna ayagala okwesimbawo mu kamyufu.   Omubaka wa Mityana North Godfrey Kiwanda agamba ensimbi zino zakulemesa naddala abagenda okwesimbawo omulundi ogusookera ddala.   Kiwanda agamba […]

Omulambo ku ssezibwa gubasattizza

Omulambo ku ssezibwa gubasattizza

Ali Mivule

July 14th, 2015

No comments

Ensasagge nentiisa bigudde mu badigize ababadde bazze okulya obulamu bwebazudde omulambo mu mugga Ssezibwa e Kayanja mu district ye Mukono. Omulambo gwomuwala atategerekese gulabiddwa abalambuzi ku Ssezibwa Resort akafo akasanyukirwamu, nga kisubirwa yaggwa mu biyiriro byamazzi ebisangibwa ku kyalo Busiba mu gombolola ye Nakisunga. Wabbali […]

Poliisi esse abadde abba omulongooti

Poliisi esse abadde abba omulongooti

Ali Mivule

July 14th, 2015

No comments

Poliisi ye  Bukomansimbi eriko omusajja gw’ekubya amasasi n’emutta bw’asangiddwa nga yemakulira ku mulongooti gwa kampuni y’amasimu eya Airtel.   Paul Ssemakula omutuuze we Zana wano mu Kampala y’akubiddwa amasasi agamutiddewo oluvanyuma lw’okumusanga lubona nga apangulula omulongooti e Bukomansimbi.   Semakula okutibwa kyaddiridde omukuumi w’omulongooti guno […]

Ebyenfuna bikyali bibi

Ebyenfuna bikyali bibi

Ali Mivule

July 14th, 2015

No comments

Abakugu mu bye’nfuna balabudde nti ebyenfuna by’eggwanga byakwongera okunafuwa singa ebyobufuzi mu ggwanga tebitebenkera. Olunaku lweggulo banka y’eggwanga enkulu y’alinyisizza amagoba banka endala kwezewolera ensimbi nga kale abasinga batidde nti nazo zandirinyia kweziowolera bannayuganda. Abamu ku bakugu ebyenfuna okunafuwa bakiteeka ku siringi ya Uganda kwongera […]

Abalwanirira eddembe ly’obuntu bakaaba

Abalwanirira eddembe ly’obuntu bakaaba

Ali Mivule

July 14th, 2015

No comments

Abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu basabye gavumenti okuzzawo n’okuzza buggya endagaano ya ssentebe w’akakiiko akalwanirira eddembe ly’obuntu mu ggwanga. Endagaano ye y’aggwako mu mwezi ogwokuna Eyali ssentebe w’akakiiko kano  Margret Ssekajja agamba okulwawo okuzzawo akakiiko kano kuba kutyobola ddembe ly’obutu. Agamba mukiseera kino abantu baagala kuyambaibwa olw’edembe […]

Okusasula Zakati El-fitr kitukuza ekisiibo

Ali Mivule

July 14th, 2015

No comments

Nga abayisiraamu basemberera okukuza Eid ,abaddu ba Allah bonna bakubiriziddwa okwetegeka okusasula Zakat Fitr nga tebanasaala Eid. Omuteeko guno gusasulibwa ku nkomerero y’omwezi omutukuvu ogwa Ramadhan. Imam w’omuzikiti gwa Old Kampala  Sheikh Imran Ssali agambaokuwaayo kuno kutukuza ekisiibo ky’omusiibi n’okusangula ebisobye mu kiseera ky’okusiiba. Zakat […]