Amawulire

Abazadde abatunda omwana eri abasajja bakwatiddwa

Ali Mivule

July 9th, 2015

No comments

Poliisi mu kibuga Kerala mu ggwanga lya Buyindi poliisi eriko abazadde bekutte lwakutunda muwalawe  ow’emyaka 13 eri abasajja okumukozesa mu nsonga z’omukwano.

Omuwala ono ategezezza nga bazadde be bwebabadde bafuna ssente okuva eri agasajja gakagwensonyi negamuddako okumukabasanya.

Agasajja gano gabadde gasasula rupees 3000 okwetasiza ku kawala kano nebakamalirako ejjakirizi.

Abantu abali eyo mu 40 poliisi etegezezza nga bw’egenda okubakwata kubanga bebamu ku babadde bakozesa omuwala ono.

Mu mwaka gwa 2011, poliisi mu kitundu kyekimu y’akwata taata ow’emuwala ow’emyaka 17 eyamukaka okwegatta n’abasajja abasoba mu 200 yefunire ssente.