Amawulire

Bannamwulire balabuddwa

Ali Mivule

July 9th, 2015

No comments

Akakiiko k’ebyempuliziganya aka Uganda communications commission kavuddeyo nekalabula emikutu gy’amawulire gyonna ku kufulumya amawulire mu ngeri y’ekikugu okwewala okuwabya abantu naddala mu biseera bino nga tusemberera okulonda kwa 2016.

Mu kiwandiiko ekifulumye, akulira akakiiko kano  Godfrey Mutabaazi ategezezza nga buli mukutu bwegusanye okufulumya amawulire agatukiridde awatali kyekubirira yenna.

Okulabula kuno kujidde mu kiseera nga wakayita nnaku nga poliisi jyeggye erabule emikutu gy’amawulire gyonna okwewalira ddala okufulumya amawulire ag’obulimba.