Amawulire

KCCA eggadde Shoprite

Ali Mivule

July 9th, 2015

No comments

Ab’e kitongole kya KCCA abakola ku by’obulamu bagadde ekifo by’eby’emmere mu supamaketi ya Shoprite.

Ekifo kino kigaddwa oluvanyuma lw’abalondoola ebyobulamu mu KCCA okusanga ng’ekifo kino kijama nga tewasaana kuva kyakulya kiriibwa bantu.

Omwogezi wa KCCA  Peter Kauju  agamba bazze balabula abatwala ekifo kino okutereeza obuyonjo ku nsonga eno awatali kukyuusamu.

Kauju agamba bano bakubaggala okutuusa nga batuukirizza obukwakulizo ku buyonjo obwetaagisa.