Amawulire

Mubeere bagumikiriza- Paapa

Mubeere bagumikiriza- Paapa

Ali Mivule

November 28th, 2015

No comments

Paapa Francis asabye abakkiriza okubanga abagumikiriza wakati mu buzibu n’okunyigirizibwa byebayitamu. Bw’abadde akulembeddemu missa e Namugongo ku kiggwa ky’abakatuliki ,paapa ategezezza nti mu kadde kano ensi ejaguza kubanga waliwo abeewaayo olw’eddiini n’okukiriza kwaabwe kale nga n’abantu mu bulamu bwa bulijjo balina okuyiga okwewaayo. Paapa asizza […]

21 bafudde bbomu

21 bafudde bbomu

Ali Mivule

November 28th, 2015

No comments

Abantu 21 beebafiiride mu bulumbaganyi obukoleddwa bannalukalala ku muzikiti gw’aba Shia mu ssaza kye Kano munda mu ggwanga erya Nigeria. Abeerabiddeko n’agaabwe bategezezza nti lumira myoyo yebwatuliddeko bbomu wakati mu kibinja ky’abantu. Bino bibadde ku kaalo Dakasoye ekyesudde mayiro 13 mu bukiikaddyo bw’ekibuga Kano.

Paapa ali Uganda

Paapa ali Uganda

Ali Mivule

November 27th, 2015

No comments

Paapa Francis wetwogerera nga mutaka mu Uganda. Paapa atonnye ku kisaawe Entebbe ku ssaawa kkumi n’emu n’eddakiika munaana ng’ajjidde mu nyonyi y’obwa paapa emanyiddwa nga Italia. Ayaniriziddwa pulezidenti Museveni ne mukyala we era ng’enyimba okuli olw’eggwanga n’olwa amawanga ga East Africa zikubiddwa. Zino ziyimbiddwa nga […]

Drogba ayagala bwa maneja

Drogba ayagala bwa maneja

Ali Mivule

November 26th, 2015

No comments

Eyali muyizi tasubwa wa Chelsea Didier Drogba agamba nti alina endagaano emukkiriza okudda mu kiraabu eno kyokka ng’atunuula bwa maneja Drogba nga kati azanyira mu Canada yateeba goolo 164 mu biseera byeyamala mu Chelsea  

Bungereza yakulumba IS

Ali Mivule

November 26th, 2015

No comments

Katikkiro wa Bungereza David Cameron agamba nti okulumbagana bannalukalala ba IS mu ggwanga lya Syria kyakwongera okunyweeza eby’okwerinda. Ono asanguddewo okutya okubaddewo nti okulumba bano kiyinza kuvaamu bizibu byereere eri Bungereza n’amawanga amalala. Cameroun agamba nti nebwebatalumba ba IS era batandika dda okubalumba. Bungereza egamba […]

Besigye e Mukono, Nambooze bamungoodde, Mbabazi ayagala nkyukakyuka

Ali Mivule

November 26th, 2015

No comments

Akutte bendera y’ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye asabye abantu obutakoma kulonda wabula bakuume akalulu okutuuka nga kalangiriddwa Besigye abadde atalaaga disitulikiti ye Mukono. Besigye yegattiddwaako omubaka w’ekitundu Betty Nambooze, Erias Lukwago, Ibrahim Semuju Nganda, John Ken Lukyamuzi n’abalala. Wabula Nambooze basoose kumugaana kwetaba mu […]

Ssebuufu akomyewo mu kkooti

Ali Mivule

November 26th, 2015

No comments

Omusuubuzi omukukutivu ow’emotoka mu Kampala Muhammad Ssebufu addiziddwaayo ku meere e Luzira. Ssebuufu aleteddwa mu kkooti okutegeera omusango gwe wegutuuse naye nga ali mu mbeera mbi nnyo ddala era nga aleeteddwa mu mikono nga banne bamuwaniriridde. Omu ku ba makomera atayatuukirizza manya ge ategezezza kkooti […]

Yettidde e Mulago

Ali Mivule

November 26th, 2015

No comments

Waliwo omusajja eyettidde ku ddwaliro ekkulu e Mulago Ono abuuse okuva ku mwaliiro gw’okuna n’agwa wansi era tazzeemu. Omusajja ono atannaba kutegerekeka mannya kigambibwa okuba nti yatwalibwa kabangali ya poliisi ku ddwaliro e Mulago oluvanyuma lw’okutaasibwaku bantu abamugwaako ekiyiifuyiiifu nebamukuba . Omwogezi w’eddwaliro lye Mulago […]

Paapa y’ali ku mimwa

Ali Mivule

November 26th, 2015

No comments

Abakirisitu mu Uganda bakyagenda mu maaso n’okwesunga paapa nga n’ababaka mu palamenti mw’obatwalidde Omubaka we Isingiro mu bukiikaddyo Alex Byarugaba agamba nti okukyaaza paapa Kintu kya maanyi nnyo kubanga ajja n’emikisa. Ono agamba nti ebimu by’ayagala paapa ayogereko gy’emirembe n’okukuuma obutonde. Paapa wakutuuka mu ggwanga […]

Bwanika alumbye gavumenti ku Luweero

Bwanika alumbye gavumenti ku Luweero

Ali Mivule

November 26th, 2015

No comments

Ssenkaggale w’ekibiina kya Peoples’ Progressive Party Dr. Abed Bwanika alumirizza gavumenti ya NRM okukuumira abantu be Luweero mu bwavu obutagambika nga babasuubiza ebyoya bw’enswa mu myaka 3o gyebakamala mu buyinza. Bwanika bino yabyogeredde mu nkungaana zeyakubye e Nakaseke ne Luwero n’ategeeza nti kyekiseera bannaluweero okukyusa […]