Amawulire

Paapa ali Uganda

Paapa ali Uganda

Ali Mivule

November 27th, 2015

No comments

File Photo: Enyonyi eyareese papa mu Uganda

File Photo: Enyonyi eyareese papa mu Uganda

Paapa Francis wetwogerera nga mutaka mu Uganda.

Paapa atonnye ku kisaawe Entebbe ku ssaawa kkumi n’emu n’eddakiika munaana ng’ajjidde mu nyonyi y’obwa paapa emanyiddwa nga Italia.

Ayaniriziddwa pulezidenti Museveni ne mukyala we era ng’enyimba okuli olw’eggwanga n’olwa amawanga ga East Africa zikubiddwa.

Zino ziyimbiddwa nga n’emizira 21 bwegigenda mu maaso n’okukubwa amaggye g’eggwanga.

Paapa olumaze n’atandika okubuuza ku babadde bamulinze okuli ne bannaddiini nga mu kadde kano ayolekera amaka g’omukulembeze w’eggwanga.

Bw’anava eno wakudda e Munyonyo ng’eno kapati emyuufu yassiddwaawo dda n’entebe paapa mw’atuula ng’akulemberamu misa ku kiggwa kye Kigunga ng’eno nayo waliwo abajulizi abattibwa.

Bbo abantu bakedde bukeezi ku nguudo nga nakati bakyakwatiridde ddala ku lw’entebbe nga balinze kuwuubira ku paapa.

Oluguudo lwa Entebbe mu kadde kano luggale okutuuka ku ssaawa nnya ez’ekiro okusobozesa paapa  okutambula obulungi.

 

Ebisale by’entambula biwanikiddwa ku nguudo ezigenda okukozesebwa paapa.

Abasinze okukosebwa beebakozesa oluguudo lwa Entebbe ne Namugongo nga kino aba taxi bakikoze kubanga bakozesa kati nguudo zewala okutumbuza abantu kubanga ezisinga zaggaddwa.

Okugenda Entebbe luli omuntu abadde asasula enkumi 3000 kyokka nga kati bawa ttaano, E Ssonde ne Namugongo zituuse nazo ku nkumi ttaano n’enkumi ennya.

Yye omu ku bakulembeddemu okusonda ensimbi eziddabirizza Munyonyo Owek Nakiwala Kiyingi agamba nti omulimu okutereeza tegubadde mwangu kyokka nga basobodde okukola ku kitundu ekisinga obunene.