Amawulire

Abeesimbyeewo bawenja kalulu

Ali Mivule

December 4th, 2015

No comments

Abeesimbyeewo ku bukulembeze bw’eggwanga bakyatalaaga ebintu ebitali bimi mu kawefube w’okuwenja akalulu akanabatuusa mu ntebe esinga obunene mu ggwanga Ku bano kuliko owa FDc Dr Kiiza Besigye, Owa NRM Yoweri Museveni, Amama Mbabazi, Prof Baryamureeba, Benon Biraaro , Maureen Kyalya n’abalala. Yye John Patrick Amama […]

Abasoba mu 10 tebavganyiziddwa

Ali Mivule

December 4th, 2015

No comments

Bannakibiina kya NRM 8 beebayiiseemu nga tebavuganyiziddwa ku mutendera gwa palamenti. Ne ba SSentebe 10 nga kati bano balinze kulayira. Ssabawandiisi w’ekibiina kino Justine Lumumba y’alangiridde bino bw’abadde ayogerako eri bannamawulire Kuno kwekuli owe Buyaga West Barnabas Tinkasiimire, Thomas Tayebwa owe Ruhinda North n’abalala. Kati […]

abasoba mu 70 bawandiisiddwa mu Kampala

abasoba mu 70 bawandiisiddwa mu Kampala

Ali Mivule

December 3rd, 2015

No comments

Mu kampala abantu abasoba mu 70 beebawandiisiddwa okuvuganya ku bifo omunaana ebikiikirirwa mu palamenti. Kuliko omubaka wa kampala, amasekkati ga kampala, Nakawa, Rubaga awava ababiri, kawempe ne Makindye. Omu ku bawandiisizza asinze okwewunyisa buli omu ategerekese nga Bukenya Comas omugoba wa bodaboda agambye nti nabo […]

Bannamateeka ba Mao batuula obufofofo

Bannamateeka ba Mao batuula obufofofo

Ali Mivule

December 3rd, 2015

No comments

Bannamateeka abakiikiridde DP bawaddeyo okwemulugunya kwaabwe nga bawakanya okugana okwuandiisa akulira ekibiina kino Norbert Mao. Mao teyawandiisiddwa kwesogga lwokaano lw’anaakiikirira aba municipaali ye Gulu lwabutaba ku lukalala lw’abalonzi. Bannamateeka ba Mao kati bakulinda eky’okuddamu mu nnaku 7 ezoogerwaako ssemateeka. Bbo nno bannakibiina bakyasobeddwa ku ngeri […]

Abawagizi basatu bafudde

Abawagizi basatu bafudde

Ali Mivule

December 3rd, 2015

No comments

Omuwagizi w’omu ku besimbyeewo ku kya Mawokota South Kiyingi Kenneth Joseph Bbosa azirikidde mu lukungaana lw’ebyobufuzi n’afa. Afudde ategerekeseeko lya musawo jjingo owo ku kyaalo Nabyewanga. Omusajja ono afudde atuusibwa mu ddwaliro e Mpigi nga tekinnaba kutegerekeka kiki ekivuddeko puleesa okumukuba Ate e Kayunga, omuwagizi […]

Ebyokwerinda binywezeddwa mu kibuga

Ebyokwerinda binywezeddwa mu kibuga

Ali Mivule

December 3rd, 2015

No comments

Ebyokwerinda binywezeddwa mu kibuga wakati nga abaserikale bakuuma ebintu by’abasuubuzi abaganye okwetaba mu kwediima K’okuggala amaduuka gaabwe. Aduumira poliisi ya CPS  Arnold Baguma ategezezza nga abasuubuzi bwebali abeddembe okuggulawo amaduuka gabwe n’abagagala bwebatyo wabula nga tebaagala kavuyo kona mu kibuga. Ekibiina ekitaba abasuubuzi wano mu […]

Ruhindi abyeganye

Ruhindi abyeganye

Ali Mivule

December 3rd, 2015

No comments

omubaka w’e gombolola ye Nakawa  era ssabawolereza wa gavumenti  Fred Ruhindi yesamudde ebyokubeera emabega w’okuleeta etteeka lyabakansala okulondera abantu loodi meeya wa kampala. Etteeka lino lyaletebwa nga ezimu ku nongosereza mu mateeka agafuga ekibuga Kampala wabula oluvanyuma gavumenti neyetema engalike nebabivako. Ruhindi agamba tebilinamu Mukono.

Nambooze wa Besigye

Nambooze wa Besigye

Ali Mivule

December 3rd, 2015

No comments

Ssentebe w’ekibiina kya DP mu bitundu bya Buganda  Betty Nambooze alangiridde mu lwatu nga bw’awagira Besigye ku besimbyewo ku bwapulezidenti. Nambooze bazze bamukolokota okuwagira Mbabazi  neyelabira munwanyi we Besigye eyamutwala nemuddwaliro e Nairobi okujanjabibwa. Mu lukungaana lweyakubye  mu paaka e Mukono, Nambooze agamba yali tasobola […]

Katongole Singh yekyanze

Katongole Singh yekyanze

Ali Mivule

December 3rd, 2015

No comments

Ab’ekibiina kya NRM bikyabasobedde  ku ani  owokuwagira mu Rubaga North. Kino kiddiridde akakiiko k’ebyokulonda okugoba Singh Katongole okwesimbawo lwa munne Brian Tindyebwa okumuwawabira nti ebitabo bye tebiwera nebamusuuza akamyufu ka NRM. Kati ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda ka NRM Tanga Odoi tikiti y’agikwasizza dda Brian Tindyebwa  eyasunsuddwa […]

babiri bafiiridde mu kampeyini

babiri bafiiridde mu kampeyini

Ali Mivule

December 3rd, 2015

No comments

Omuntu omu awanuse ku loole waggulu gy’abadde ng’awerekera omuntu we okwuandiisibwa Omusajja ono kigambibwa okuba ng’abadde atamidde era nga bw’avudde waggulu ate emotoka n’emilinnya ekigere ekimulese mu mbeera embi ddala Abadde aweerekera meeya we Nansanga Wakayima ng’ono kati ayagala kukiikirira ba municipaali ye Nansana mu […]