Amawulire
Ebyokwerinda binywezeddwa mu kibuga
Ebyokwerinda binywezeddwa mu kibuga wakati nga abaserikale bakuuma ebintu by’abasuubuzi abaganye okwetaba mu kwediima K’okuggala amaduuka gaabwe.
Aduumira poliisi ya CPS Arnold Baguma ategezezza nga abasuubuzi bwebali abeddembe okuggulawo amaduuka gabwe n’abagagala bwebatyo wabula nga tebaagala kavuyo kona mu kibuga.
Ekibiina ekitaba abasuubuzi wano mu kampala kyalangiridde akediimo kokugalawo emaduuka gaabwe ennaku bbiri nga bemulugunya ku misolo gyebatategeera okuva eri ekitongole ekiwooza.
Ssentebe w’ekibiina kya KACITA Everest Kayondo agamba basazewo okuggala amaduuka gaabwe oluvanyuma lw’abakungu b’ekitongole ekiwooza okugaana okubawuliriza.