Amawulire

Aba Go-forward balumbye akakiiko

Ali Mivule

December 9th, 2015

No comments

Ab’ekisinde kya Go forward basabye ab’akakiiko akalondesa okukozesa obuyinza bwaabwe okukoma ku ba NRM okutataaganya enkungaana zaabwe. Amyuka omwogezi wa TDA Sadam Gayira agamba nti omuntu waabwe alina okubeera mu bugwanjuba olunaku lw’enkya kyokka nga baafunye da amawulire nti muk’omukulembeze w’eggwanga yeeyabasooseyo ng’ogwamututte kulemesa nkungaana […]

Amaggye geeganye okuwandiisa abantu

Ali Mivule

December 9th, 2015

No comments

Amaggye g’eggwanga gawakanyizza ebigambibwa nti waliwo okuwandiisa abajaasi okufuna endagamuntu Akulira DP Norbert Mao yategeezezza nti mu bitundu bye Gulu yabadde afunye amawulire nti aba minisitule y’omunda mu ggwanga bakyawandiisa abantu kale nga kyewunyisa nti yye bagaana okumuwandiisa Kati Omwogezi w’amaggye g’eggwanga Lt.Col Paddy Ankunda […]

Gavumenti yakusasula abaafiriddwa

Ali Mivule

December 9th, 2015

No comments

Gavumenti etegeezezza nga bw’eri ennetegefu okuliyirira abantu abataano abafiiridde mu kabenje akeetabiddwaamu tiimu y‘eggwanga. Abazannyi ba Uganda cranes basatu beebalumiziddwa mu kabenje kano akaagudde e Kamonkoli ku luguudo oluva e Mbale okudda e Tirinyi baasi eyabaddemu abazannyi bweyavuddeko omupiira  neyambalira taxi abantu bataano nebafa Minisita […]

Bataano bafiiridde mu kabenje ka tiimu y’eggwanga

Bataano bafiiridde mu kabenje ka tiimu y’eggwanga

Ali Mivule

December 8th, 2015

No comments

Abantu bataano kikakasiddwa nti beebafiiridde mu kabenje ku luguudo oluva e Mbale okudda e Mbale. Akabenje kano kagudde ku kyaali Jami ekisangibwa e Kamonkoli mu dsitulikiti ye Budaka. Abeerabiddeko n’agaabwe bagamba nti baasi ya Uganda Cranes ebadde eva e Soroti ebuseeko omupiira olwo n’etandika okutagala […]

Abazannyi ba Uganda Cranes bagudde ku kabenje

Abazannyi ba Uganda Cranes bagudde ku kabenje

Ali Mivule

December 8th, 2015

No comments

Abazannyi ba Uganda Cranes bafunye akabenje. Bano babadde bava Soroti kusisinkana pulezidenti Museveni abadde abayozayooza okuwangula ekikopo kya CECAFA. Abazannyi basatu beebafunye ebisago mu kabenje akagudde e Kamonkolo ku luguudo oluva e Mbale okudda e Tirinyi. Ablumiziddwa kuliko Dennis Okot , Isaac Muleme ne Kezron […]

Abayizi bafiiridde mu kabenje

Abayizi bafiiridde mu kabenje

Ali Mivule

December 8th, 2015

No comments

Abayizi bana bafiiridde mu kabenje akagudde mu gombolola ye Arusi mu disitulikiti ye Nebbi. Abayizi bano bonn babadde ba ssomero lya Erusi siniya school. Abaana bano babadde ku kiroole ekiremedde omugoba waakyo nekyefuula abayizi bonna nebagwa era 43 abalala bali mu mbeera mbi ddala mu […]

Abasawo b’ebikwangala babayodde

Abasawo b’ebikwangala babayodde

Ali Mivule

December 8th, 2015

No comments

Abasawo b’ebikwangala 12 bakwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa ab’ekibiina kya Allied Health professional’s council. Obulwaliro 7 bwo buggaddwa lwabutatuukiriza byetaago Omu ku bakwatiddwa ye Dr. Drake Kizito omukulu e Mengo ng’alina eddwaliro e Kawuga Atwala ebyobulamu mu Buganda Micheal Mubiru Kayizzi agambye nti bagaala kukoma ddala […]

Mao atabukidde akakiiko akalondesa

Mao atabukidde akakiiko akalondesa

Ali Mivule

December 8th, 2015

No comments

Akulira ekibiina kya DP Norbert Mao agamba nti keekadde akakiiko akalondesa kanyonyole ku ani omutuufu alina okulonda Mao agamba nti kyannaku nti okulond kusembedde naye ng’emivuyo miyitirivu ku lukalala olugenda  okukozesebwa mu kulonda. Ono agamba nti emyezi ena emabega, abadde alwana kulaba nti erinnya lye […]

Ssemaka akutte omwana

Ssemaka akutte omwana

Ali Mivule

December 8th, 2015

No comments

Poliisi e Mukono ekutte omusajja wa myaka 52 akkakkanye ku myaka 10 n’amutunuza mu mbuga ya sitaani. Ssalongo Geoffrey Namugera nga wa bakyala babiri akwatiddwa oluvanyuma lwa maaa w’abaana okwemulugunya Omukyala ono agambye nti yalabye muwala we ng’atambula agaziwa kwekumukazakaaza n’amubuulira ebyamutuseeko. Atwala poliisi ye […]

Temweyingiza mu byabufuzi- Poliisi erabuddwa

Ali Mivule

December 8th, 2015

No comments

Ab’ebyokwerinda basabiddwa ku kweyingiza mu byobufuzi ebyawula mu bannayuganda Kino kizze nga kampeyini ziggya zeyongeramu ebbugumu era nga ne alipoota eyafulumye yalaze dda nti poliisi ekwata kisooka okutulugunya abavuganya. Akulira omukwago gwa bannamateeka Ruth Sebatindira agamba nti poliisi erina okuyiga engeri entuufu y’okukwatamu abantu n’okusigala […]