Amawulire
Sekandi awandiisiddwa
Amyuka omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi awandiisiddwa okuvuganya ku kifo kya Bukoto Central. N’eyali akulira abamuyiggira akalulu John Paul Migadde naye awandiisiddwa okumuvuganya. Paul Migadde nga ye ssentebe wa NRM e Kyannamukaaka yesimbyeewo ku lulwe era ng’agamba nti omuntu we amumazeemu amaanyi kubanga takola ku […]
Kayunga babawandiise- Nantaba awewedde
EKayunga, abantu basatu beebawandiisiddwa okukiikirira ebifo ebitali bimu mu palamenti. Asoose okwewandiisibwa ye Mubaka we Ntenjeru ey’obukiikaddyo Patrick Nsanja owa NRM wabula nga negweyawangula mu kamyufu Fred Baseke naye awandiisiddwa. Omulala awandiisiddwa ye George Wilson Nsamba Kumama,ng’ono yayitamu okukwatira NRM bendera oluvannyuma lw’okuwangula minisita w’abakadde […]
20 bawandiisiddwa e Mukono- Nambooze awera
E Mukono, abagaala okukiika mu palamenti abasoba 20 beebawandiisiddwa nga muno mwemubadde n’abawagulwa mu kamyufu ka DP ne NRM. Ku bano kuliko Peter Bakaluba Mukasa, Francis Lukooya Mukoome, Betty Nambooze, Abdallah Kiwanuka minisita Ronald Kibuule n’abalala. Ng’ayogerako eri bannamauwlire oluvanyuma lw’okukakasibwa, omubaka wa municipaali Betty […]
Temugulira balonzi mwenge
Abesimbyewo ku bukiise bwa palamenti mu bitundu bye Wakiso balabuddwa obutageza kugabula mwenge buli webakuba enkungaana. Okulabula kuno kukoleddwa akulira eby’okulonda mu disitulikiti ye Wakiso Hajat Sarah Bukirwa. Bukirwa ategeezezza nti bagezezzaako okulaba nga bamalawo eby’okugulirira abalonzi kale nga n’okugulira abantu omwenge nakyo bakitunuulidde ku […]
Lukwago yemulugunyizza eri akakiiko
Loodimeeya Erias Lukwago awandiikidde akakiiko akalondesa ku nsonga y’enkiiko ze ezizze zirinyibwaamu eggere. Kino kizze oluvanyuma lwa poliisi okuyimiriza olukiiko lwe olwabadde lulina okubeera mu katale e Nakasero. Lukwago agambye nti ekikolwa kya poliisi kyagendereddwaamu kumulemesa era nga tajja kutuuka Ayagala poliisi enyonyole lwaki yamwefuulidde […]
Abasoba mu 30 bawandisiddwa mu kampala
Abantu abasoba mu 32 beebawandiisiddwa okuvuganya okukiika mu palamenti okuva mu kibuga Kampala. Bano bavudde mu divizoni ettaano ezikola Kampala ku mikolo egibadde ku kibangirizi kya bannamakolero e Lugogo. Akulembeddemu okuwandiisa abesimbyeewo Charles Ntege agambye okuwandiisa tekubaddeemu buzibu bwonna era nga basuubira nti kwakuggwa bulungi. […]
Mao tawandiisiddwa
Akakiiko akalondesa kagaanye okuwandiisa akulira ekibiina kya DP Norbert Mao. Ono erinnya lye terisangiddwa ku lukalala lw’abalonzi ate nga kino kyekimu ku bisanyizo. Mao abadde atambulira ku lukalala olubadde lukozesebwa okuva mu mwaka gwa 1996 kyokka nga luno lwaggaako. Mao ategeezezza nti webakolera olukalala olupya […]
Eggaali y’omukka etandika bbalaza
Eggaali y’omukka esabaaza abantu yakutandika okukola ku bbalaza ya ssabbiiti ejja Aba kkampuni y’eggaali y’omukka ekya Uganda Railway corporation kko ne KCCA beebalangiridde bino. Akulira kkampuni eno Charles Kateeba agambye nti buli lunaku eggaali eno yakusabaza abantu emirundi ena ng’esooka yakusimbula ssaawa 6.30 ku makya, […]
Aba FDC bagenze mu kkooti
Ensonga z’ani anakwata bendera y’ekibiina kya FDC ku kifo kya meeya we Lubaga zigenze mu kkooti. Kiddiridde ekibiina okuwandiisa Joyce Nabbosa Ssebugwaawo ng’akuttte bendera y’ekibiina awatali kamyufu. Aloopye ekibiina yeeyali amyuka akyogerera John Kikonyogo Kikonyogo agamba nti yalinda akamyufu k’ekibiina nga teri kivaayo ate nga […]
Mirundi bamuweze ku mpewo
Akakiiko akafuga ebigenda ku mpewo kayimirizza munnamawulire wa gavumenti Tamale Mirundi okuddamu okwogerera ku mikutu gy’amawulire Ebbaluwa evudde mu kakiiko kano eraga nti Tamale Mirundi ayitirizza okulumba abantu ng’akozesa emikutu gy’amawulire nga tebaggya kumukkiriza kusigala ng’akikola Akulira akakiiko kano Godfrey Mutabaazi agamba nti Tamale tajja […]