Amawulire
Abantu bandaze omukwano- Besigye
Akwatidde ekibiina kya FDC bendera Dr. Kiiza Besigye ategezezza nga bw’alina essaala emu eri paapa ayogereko ne pulezidenti Museveni aweeyo obuyinza mu mirembe. Nga ayogerako nebannamawulire mu makage e Kasangati, Besigye ategezezza nga okukyala kwa paapa bweguli omukisa ogw’enjawulo eri bannayuganda naddala mu biseera bino […]
OKukyala kwa Paapa kwakutumbula obuwanguzi- Museveni
omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ategezezza nga okukyala kwa paapa bwekugenda okutumbula enyo eby’obulambuzi mu ggwanga. Nga ayogerera mu lukungaana lwabannamawulire olwaleero, pulezidenti Museveno ategezezza nga okukyala kwa paapa kuno bwekutunze nyo Uganda eri bamusiga nsimbi bangi kale nga bakweyiwa mu ggwanga okuleetawo enkulakulana. Pulezidenti […]
Mwe mulina okukyuusa ebintu- Paapa eri abavubuka
Paapa Francis akubirizza abavubuka okugoberera obuwangwa bwabwe wamu n’okussa ekitiibwa mu kgambo kya mukama okuleetawo embeera ennungi mu bitundu byabwe. Nga akulembeddemu ekitambiro ky’emisa amakya galeero mu ggwanga lya Kenya, paapa ategezezza nga abantu be Kenya bwebasanye okwesunako olw’obulamu obulungi bwebalina mu famile zaabwe. Paapa […]
Teri kukomola bakyala mu mbugo
Omukulembeze w’eggwanga lya Gambia aweze omuze gw’okukomola abakyala mu mbugo. Abakyala abasukka mu kimu kya kubiri naddala abayisiraamu baali bakomolwa dda mu mbugo nga na bangi boolekedde akaso Ekikolwa kino kiruma nnyo era nga kivuddeko abakyala bangi okufuna siriimu, tetanus n’obulwadde bwa Hepatitis B ne […]
Paapa atuuse mu Africa- Keny y’esoose okumulozaako
Okukyala kwa paapa mukisa eri eggwanga. Ssabasumba wa kkanisa ya Uganda Stanley Ntagali agamba nti paapa mutume wa Katonda era nga yyo kkanisa netegefu okumwaniriza. Ng’awayaamu ne bannamawulire , owek. Stanley Ntagali agambye nti okukyaala kwa paapa kwakuyamba okunyweeza obumu mu bakkiriza. Asabye abantu okufuba […]
Babaano abagenda okuwenjeza Museveni akalulu
Ab’ekibiina kya NRM nabo tebatudde butuuzi. Bano batongozza ekibinja ky’abagenda okusaggula akalulu mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu. Ekibinja kino kikulembeddwamu amyuka ssentebe w’ekibiina kino Alhajji Moses Kigongo nga kati wakugenda nga asaggulira pulezidenti Museveni akalulu. Ssabawandiisi w’ekibiina kya NRM Lumumba Kasule ategezezza nga ekibinja ky’ebyamawulire […]
Eby’entambula byakukyankalana
Eby’entambula byakutataganamu ku nguudo paapa n’abagenyi abayite gyabanayita. Kino kibikuddwa akulira poliisi y’ebidduka mu ggwanga Dr Steven Kasiima bw’abadde ayogerako nebannamawulire Kasiima agambye oluguudo lw’ Entebbe Paapa gy’agenda okuyita lwakuggalwa okuva ku ssaawa 10 okutuukira ddala ku ssaawa 4 ez’ekiro paapa atambule bulungi. Ne ku […]
Omusaabaze afiiridde mu Taxi
Entiisa ebutikidde abasaabaze ababadde bava e Jinja okudda e Kampala bwe bakizudde nti munabwe mu mmotoka abadde yafudde dda. Omugenzi ategerekese nga Joseph Ssegendo atemera mu myaka 25 omutuuze ku biziga bye Ddolwe. Akulira okunonyerezza ku misango ku poliisi e Mukono Henery Ayebare ategezezza nti […]
Abakima endagamuntu bakaaba
Abantu abajjayo endaga muntu zaabwe e Mukono bavudde mu mbeera olwobutafibwako. Bano bataamye nga bemulugunya nti bwebajja basiibawo enjala nebaluma, bava wala atenga endaga muntu tebazibawadde olwobusonga obutaliimu. Tusobodde okwogerako nabamu nebawera nga bwebolekedde obutetaba mu kulonda okujja. Wabula ye atwala ebyokulonda nokugaba endaga muntu […]
Mbabazi yegaanye okulya ensimbi z’engulu
Eyali ssabaminisita w’eggwanga era eyesimbyewo wansi w’ekisinde kya Go-Forward Amama Mbabazi yeganye eby’okwemolera ku nsimbi ezaali ez’okubudabuda abakosebwa olutalo mu bukiika kkono bw’eggwanga. Mbabazi agambye tekwatanga ku nsimbi zino kubanga etteeka teriwa minisita yenna nga ne ssabaminisita mwomutwalidde buyinza kukwasaganya nsimbi zino. Nga […]