Amawulire

Owa Boda bamusizza masasi

Owa Boda bamusizza masasi

Ali Mivule

December 1st, 2015

No comments

Waliwo abazigu abatanaba kutegereka abakkakkanye ku wa Bodaboda nebamukuba amasasi agamutiddewo. Omugenzi ategerekese nga yye John Kabanda, ng’ono abazigu babadde bagezaako okumunyagako bodaboda, wabula bw’agezezzaako okugaana nebamukuba amasasi agamutiddewo. Ayogerera poliisi mu kitundu kino Lamecka Kigozi atubuulidde nti bano poliisi etandise okubayigga, wabula nga mpaawo […]

Lukwago teyekwasa tteeka- Kikungwe

Lukwago teyekwasa tteeka- Kikungwe

Ali Mivule

December 1st, 2015

No comments

Eyesimbyeewo ku bwa loodimeeya ku lwa DP Isa Kikungwe agamba nti etteeka erifuga ekibuga teririiko mutawaana ng’abantu balina kulitegeera butegeezi. Kikungwe bino abyogedde asisinkanye banna DP e Nateete ng’ayigga akalulu. Kikungwe agambye nti etteeka lino lirambulukufu ku mulimu gwa buli omu kale nga buli omu […]

Teri kulonda ba maggye, bavubuka n’abakozi

Teri kulonda ba maggye, bavubuka n’abakozi

Ali Mivule

December 1st, 2015

No comments

Akakiiko akalondesa kongezezzaayo okuwandiisa abakiise b’ebibinja ebitali bimu mu palamenti. Kiddiridde kkooti gyebuvuddeko okusaba nti wasooke kubaawo kulambika ku nonda ya bano . Aboogerwaako kuliko abakiise b’abavubuka, abakozi, n’abakiikirira amaggye mu palamenti. Akulira akakiiko akalondesa Eng Badru Kiggundu agambye nti tebagenda kuwandiisa bantu bano nga […]

Ababaka ba palamenti baakusasula obukadde 3- kkooti

Ababaka ba palamenti baakusasula obukadde 3- kkooti

Ali Mivule

December 1st, 2015

No comments

Kkooti etaputa ssemateeka egaanye eky’okuyimiriza okuwandiisa ababaka ku nsonga y’ensimbi ezisabwa abesimbyeewo. Ensimbi zino zawanikibwa palamenti gyebuvuddeko okuva ku shs emitwalo 20 okudda ku bukadde busatu. Omulamuzi Remmy Kasule agambye nti kino kibadde kyakosa okulonda kwonna ne kampeyini. Ono agambye nti abesimbyeewo ku bukulembeze bw’eggwanga […]

Babiri bafiiridde mu kabenje

Ali Mivule

December 1st, 2015

No comments

Abantu babiri bafiiridde mu kabenje akeetabiddwaamu baasi bbiri ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu. Akabenje keetabiddwaamu baasi namba UAP-594U eya Poster Uganda ebadde egenda e Gulu n’endala eya Baby coach ebadde edda e Kampala. Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Savannah Lameck Kigozi […]

Siriimu mu bavubuka- abazadde basuddewo obuvunanyizibwa

Ali Mivule

December 1st, 2015

No comments

Nga Uganda yegatta ku nsi yonna okukuza olunaku lwa mukenenya, katikkiro wa Buganda owek. Charles Peter Mayiga asabye abavubuka okwerinda ennyo. Katikkiro agamba nti kyannaku okulaba nti kati siriimu ate azze mu bavubuka abasomyeeko amanyi buli kimu ‘engeri y’okumwewalamu. Agamba nti Buganda yakusigala ng’alabula abavubuka […]

Mabirizi azannye katemba

Mabirizi azannye katemba

Ali Mivule

December 1st, 2015

No comments

Eyesimbyewo ku bwa pulezidenti Joseph Mabirizi eby’okukuba olukungaana mu Kabuga ke Pallisa abivuddeko nga yekwasa enkuba. Mabirizi ekibuga akiyingidde kawolawola nga n’abawagizi be bamwekanze atuuse. Kati guno mulundi gwakubiri nga Mabiriizi asazaamu enkungaana nga yekwaasa ensonga ezitali zimu nga negyebuvuddeko y’asazaamu olwe Butalejja ne Kibuku. […]

Abaana ba Sitya Loss bafunye akabenje- omu afudde

Abaana ba Sitya Loss bafunye akabenje- omu afudde

Ali Mivule

December 1st, 2015

No comments

Akawala ka Patricia Nabakooza, akaazinira mu luyimba lwa Sitya Loss kazze kakuba ku matu. Kano kabadde wamu ne munne waako bwebazina  Alex Ssempijja nga yye yafiiridde olunaku lwajjo. Twogeddeko n’omuyimbi Eddy Kenzo n’atutegeeza nti abasawo bakakasizza nti Patricia kati atunula era ng’eddagala limukozeeko bulungi mu […]

Ogwa Loodimeeya gugobeddwa

Ogwa Loodimeeya gugobeddwa

Ali Mivule

December 1st, 2015

No comments

Kkooti ya ssemateeka egobye omusango ogwawaabwa munnakatemba Mulindwa Muwonge ng’awakanya okulondebwa kwa loodimeeya mu Kampala. Kinajjukirwa nti Mulindwa ono ng’ayita mu bannamateeka aba  KM Advocates yaddukira mu kkooti eno ng’ayagala eyimirize akakiiko k’eby’okulonda okusunsulamu abagenda okuvuganya ku bwa loodimeeya. Ono yali agamba nti okulondebwa kwa […]

Lwaki ssabasajja yasisinkanye paapa- Katikkiro ayogedde

Lwaki ssabasajja yasisinkanye paapa- Katikkiro ayogedde

Ali Mivule

December 1st, 2015

No comments

Obwakabaka bwa Buganda buvuddeyo nebutangaaza ku nsonga eyaviiridde ssabasajja kabaka okusisinkana paapa bweyabade agenyiwaddeko wano mu ggwanga. Bwabade ayogereera  ku masiro e Kasubi gyali kaakano, Katikkiro wa Buganda owek. Charles Peter Mayiga agambye Buganda nsaale mu kuleeta eddiini mu Uganda. Katikkiro agambye nti abamanyi ebyafaayo […]