Amawulire

KCCA ereese ebitaala bya paapa

Ali Mivule

November 25th, 2015

No comments

Ekitongole kya Kampala capital city authority  kiyungudde abakozi  640 okuteeka ebitaala ku nguudo ez’enjawulo mu kwetegekera amakyala ga paapa ku lunaku olwokutaano. Akitongole kino kyapatanye kampuni y’ebyamasanyalaze eya Phillips okuleeta ebitaala bya Solar 750 nga era byakutekebwa ku nguudo okuli  Nile Avenue, Jinja road,kumpi n’ekiggwa […]

Paapa asimbudde- Entebbe ssiwakuggalwa

Ali Mivule

November 25th, 2015

No comments

Paapa Francis asimbudde okuva ku kisaawe ky’enyonyi e Fiumicino e Vatican nga kati ayolekedde Kibuga Nairobi mu ggwanga lya Kenya. Paapa wakumala essaawa 7 mu bbanga nga era wakutukira ku kisaawe ky’enyonyi ekya Jomo Kenyatta International Airport, ku ssawa nga 11 ez’olweggulo. Paapa awerekeddwako abantu […]

Abagaala okulaba paapa basuleyo- E Kenya lunaku lukulu

Ali Mivule

November 24th, 2015

No comments

Abakulisitu abaagala okulaba ku paapa basabiddwa okugenda basule ku kiggwa ky’abajulizi e Namugongo ku lwokutaano nga 27 basobola okulaba ku mulangira w’ekeleziya obulungi enkeera ku lwomukaaga. Bwana Mukulu w’ekigo ky’e Namugongo  Vicent Lubega wabula akubirizza bonna abagenda e Namugongo okwesibira entanda nga emmere nebyokwebikka kubanga […]

Besigye ku ttaka- Gavumenti eribba mu bugenderevu

Ali Mivule

November 24th, 2015

No comments

Ye akwatidde ekibiina kya FDC bendera Kiiza Besigye asuubizza okukyuusa mu mateeka agafuga eby’ettaka okusobozesa bannayuganda bonna okumanya ebikwata ku ttaka lyabwe naddala erye byapa. Bino Besigye abyogedde akuba kampeyini e Kayunga n’ategeeza nga ekibba ttaka ekigenda mu maaso bwekigendereddwamu okwavuwaza bannayuganda. Ono agambye nti […]

Baryamureeba asuubizza federo

Ali Mivule

November 24th, 2015

No comments

Eyesimbyewo ku bwanamunigina Prof Venancious Baryamureeba, asuubizza enkola ya Federo kebukeera nga alidde akalulu k’omukulembeze w’eggwanga. Bino Baryamureba abyogeredde Jinja gy’akubye enkungaana 2 mu paaka ya Taxi e Jinja ne mu Bugembe Town Council. Agambye kino kyakusobozesa gavumenti ez’ebitundu okuganyulwa buterevu mu by’obugagga bw’eggwanga. Ono […]

Akakiiko kaanukudde Mbabazi

Ali Mivule

November 24th, 2015

No comments

Akakiiko k’ebyokulonda kyaddaaki kaanukudde ow’omukago gwa Go- Forward ku by’okutataganya enkungaana ze nga yatuuka n’okubakiba mu kkooti y’ensi yonna.   Mu bbaluwa etereddwako omukono ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Eng Badru Kiggundu, akakiiko k’ebyokulonda kalagidde ssabapoliisi w’eggwanga ayanguwe mangu okunonyereza ku kwemulugunya kwa Mbabazi.   Kiggundu agamba […]

Mbabazi atabukidde Museveni- Njakubyogera

Ali Mivule

November 24th, 2015

No comments

  Ow’ekisinde kya Go-Forward Amama Mbabazi  addiza pulezidenti Museveni omuliro n’amusaba aleme kwekwasa balala ku bimulemye akkirize ensobi ze. Mbabazi abadde ayanukula pulezidenti Museveni eyategezezza nga Mbabazi bw’alina okuneneyezebwa ku byonna ebitagenda bulungi mu gavumenti ye kubanga ya musaale nyo mu kusalawo ku nsonga ez’enjawulo. […]

Bagumbye ewa Minisita

Bagumbye ewa Minisita

Ali Mivule

November 23rd, 2015

No comments

Abantu abasoba mu bitaano bagumbye mu maka g’omubaka omukyala akikiirira disitulikiti ye Mubende nga bagala gavumenti egobe musigansimbi omuyindi Alamu Obidi mu ttaka lyaabwe kwebagobwa mwaka gwa 2006. Abatuuze bano bavudde ku byaalo bitaano ebiri mu gombolola ye Nalutuntu ng’abakulembeddwamu Hussein Bugembe ne Kansala w’eggombolola […]

Abasimattuka abayekeera balulojja

Abasimattuka abayekeera balulojja

Ali Mivule

November 23rd, 2015

No comments

Abamu ku baalumizibwa mu bulumbaganyi ku baasi e Juba batuusiddwa mu ddwaliro e Mulago nga buli omu alulojja lulwe. Ku bano kuliko Joyce Nalwadda omutuuze we Nansana  nga ono yakubwa amasasi 3 nga n’erimu likyali mu mawuggwe. Yye Joan Namutebi  n’abalala 2 abatategerekesse manya olw’embeera […]

KKanisa ne poliisi betegedde paapa

KKanisa ne poliisi betegedde paapa

Ali Mivule

November 23rd, 2015

No comments

Kkanisa ya Uganda etegeezezza nti emalirizza buli kimu okwaniriza paapa atuuka mu ggwanga ku lw’okutaano luno. Bino byogeddwa eyali ssabasumba ya Uganda Mpalanyi Nkoyoyo bw’abadde ayogerako eri bannamawulire . Ono agambye nti bamalirizza buli kimu era nga paapa w’anaatuukira okubakyalira ku lw’omukaaga nga tewali kibanja. […]