Amawulire

Amasimu 3000 gajjiddwa ku mpewo

Amasimu 3000 gajjiddwa ku mpewo

Ali Mivule

November 18th, 2015

No comments

Bannayuganda abalina amasimu agatali mawandiise basabiddwa okwetereeza oba gakujjibwaako. Atwala MTN mu Uganda Brian Gouldie bw’abdde atongoza okuwandiisa amasimu mu nkola ya digito ku wofiisi za kkampuni mu Kampala. Gouldie agamba nti amasimu agali mu 3000 bajjiddwa ku mpewo okumala akaseera era nga kino kyakugenda […]

Omusawo akutte omulwadde we

Omusawo akutte omulwadde we

Ali Mivule

November 18th, 2015

No comments

Omusawo ow’emyaka 53 akwatiddwa lwakukaka mulwadde ow’emyaka 20 akaboozi Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate agambye nti omuwala asoma ku yunivasite yagenze mu kalwaliro ka dokita ono ng’olubuto lumuluma era omusawo yamutadde mu kasenge akenjawulo amukebere. Omuwala ono agamba nti omusawo yazze […]

Abanaasisinkana Paapa bawandiisiddwa

Abanaasisinkana Paapa bawandiisiddwa

Ali Mivule

November 18th, 2015

No comments

Abavubuka abasoba mu mutwalo omulambo beebamaze okuwandiisibwa okusisinkana paapa mu kisaawe e Kololo ng’akyadde kuno. Ssabawandiisi w’olukiiko lw’abesikoopi Msgr. John Baptists Kauta bino abyogedde okwasibwa obukadde ataano okuva eri akakiiko akakola ku byempuliziganya. Agambye nti paapa wakumala e Kololo essaawa nnamba olwo ate adde e […]

Kabaka abanja  UNRA  bukadde

Kabaka abanja UNRA bukadde

Ali Mivule

November 18th, 2015

No comments

Gavumenti ya sabasajja Kabaka emalirizza enteekateeka y’okuwaaba ekitongole ky’enguudo ekya UNRA lwakuzimba nguudo ku ttaka lya mutanda nga tesasudde. Akulira ekitongole ky’ettaka ekya Buganda ekya David Kiwalabye Male, agamba nti UNRA ebanjibwa obuwumbi obusukka mu 10 olw’ettaka lya kabaka kw’eyisa enguudo. Kiwalabye anokoddeyo enguudo ng’olwa […]

Ab’amaggye  babakunyizza

Ab’amaggye babakunyizza

Ali Mivule

November 18th, 2015

No comments

Ababaka abatuula ku kakiiko akakola ku by’amateeka olwaleero bakunyizza abakiise b’amaggye mu palamenti ku mivuyo mu kulonda kko n’okutuulira abaana abato mu maggye. Ababaka okubadde Abdul Katuntu,Sam Otada n’abalala babuuzizza lwaki abakiikirira amaggye bonna beebakadde mu maggye ate nga waliwo abaana abato. Mu kwanukula, aduumira […]

Okuwandiisa kutambudde bulungi

Ali Mivule

November 18th, 2015

No comments

Okuwandiisa bakansala  ku mutendera gwa disitulikiti mu Kampala kutambudde bulungi. Bangi bamaze okuwandiisibwa era nga batandika kampeyini ssabbiiti ejja. Twogeddeko nabamu ku bawandiisiddwa okuli Allen Kisige, Saul Kulya ne Henry Lukwaya neboogera ku biki byebauubira okukolera abantu. Atwala eby’okulonda mu Kampala Charles Ntege agamba nti […]

Besigye wa balimi, Mbabazi azza Kirembe, Museveni asiimye amaggye

Ali Mivule

November 18th, 2015

No comments

Akutte bendera ya FDC mu lwokaano lw’omukulembeze w’eggwanga  Dr. Kizza Besigye asuubizza nti kavuna alya entebe wakwongera ensimbi ezissibwa mu byobulimu okutuuka ku bitundu 15 ku kikumi era ajjewo omusolo ku bikozesebwa abalimi. Agamba nti kino kyekyokka ekiyinza okubbulula eggwanga elijjuddemu abantu abasinga nga balimi. […]

Ba DP kati beebayigga Lukwago

Ali Mivule

November 18th, 2015

No comments

Ab’ekibiina kya DP bawandikidde loodimeea Erias Lukwago nga bamusaba yesimbewo ku tiketi ya DP. Lukwago yabadde amaze okwewandiisa ng’atalina kibiina mu kakiiko akalondesa Kati omwogezi wa DP, Paul Kenneth Kakande agambye nti baatudde nebakikakasa nti Lukwago ye mutuufu ow’okuwagira kubanga alina n’obuwagizi mu bantu Bano […]

Mu Bufaransa amasasi ganyooka

Ali Mivule

November 18th, 2015

No comments

Poliisi mu ggwanga lya Bufaransa eriko ekikwekweto kyekoze mu kibuga Paris okulaba nga ekukunulayo abamu ku bateberezebwa okubeera emabega w’obulumbaganyi bwolwokutaano oluwedde omwafiridde abantu abasoba mu 100. Poliisi egamba bawanyisiganyizza amasasi n’abamu ku bebatebereza okubeera abatujju nga era waliwo abaserikale abafunye ebisago.   Agavaayo galaga […]

E Wakiso Lwanga awandiisiddwa

Ali Mivule

November 18th, 2015

No comments

E Wakiso abantu 3 bebakasunsulwa okwesimbawo ku bwa ssentebe bwa disitulikiti eno.   Bano kuliko ssentebe era munna DP  Matia Lwanga Bwanika, munna FDC Umar Kyeyune n’owa NRM  Jonah Nsubuga. Bwanika asunsuddwa olwaleero era n’asuubiza okwongera amaanyi mu kukulakulanya ebyenguudo n’ebyobulamu mu kitundu.   Bwanika […]