Amawulire

Omukazi bakamukaka omukwano emirundi 43,000

Ali Mivule

November 13th, 2015

No comments

Omukyala agambibwa okukakakibwa omukwano emirundi egiweza emitwalo 43,000 akulukusizza amaziga ng’anyuma emboozi ekaabizza abawulira. Jacinto agamba nti yawambibwa abasajja enzaalwa ze Mexico nga buli lunaku abasajja 30 beebabadde bamukozesa okumala emyaka ena Omukyala ono agambye nti babadde bamutndikako ku ssaawa nnya nebamuvaako ku mukaaga gwa […]

Cranes yesozze enkambi

Ali Mivule

November 13th, 2015

No comments

Tiimu y’eggwanga the Cranes egenda butereevu munkambi okwetegekera omupiira ogwokudingana ku Sunday eno ne team ya Togo mumpaka ezokusunsulamu abanetaba mukikopo kya World Cup mugwanga lya  Russia. Cranes yawangudde Togo ku goal 1-0 olunaku lweggulo nga anayitawo kubombi,wakugenda mukibinja omunasunsulwa abo abagenda okukikirira Africa mu […]

Abaana battibwa mu kirindi

Ali Mivule

November 13th, 2015

No comments

Poliisi mu ggwanga lya Bugirimaani eriko emirambo gy’abaana gy’eguddeko nga gikukuliddwa mu kisenge Abaana bano tekinnaba kutegerekeka ngeri gyebaafa mu. Poliisi egamba nti etandise okukunya omukyala ow’emyaka 45 abadde mu nyumba omusangiddwa emirambo gino. Tekinnaba kutegerekeka emirambo gino gimaze bbanga ki mu kifo kino kyokka […]

Omulambo gunyuluddwaayo

Ali Mivule

November 13th, 2015

No comments

Poliisi enzinyamotto wamu n’ebalubbira baayo banyuludde omulambo gw’omusajja abadde agudde mu kidiba ekisenebwamu amazzi Kiteberezebwa nti ono yabbira ennaku satu emabega Poliisi e Mubende ekulembeddwamu akulira okuzikiriza omuliro John Ogogogongo basabye abantu okubayambako kubanga omuntu abadde tamanyiddwa ku kitundu era ng’ono wakubiri okufiira mu kidiba […]

Abayizi abatta munaabwe bakyatuyaana

Ali Mivule

November 13th, 2015

No comments

Abayizi be Makerere basatu abagambibwa okutta munaabwe David Ojok basindikiddwa mu kkooti enkulu bawerenembe n’emisango Omulamuzi wa kkooti ento eya Buganda road Esther Nahirya okuindika bano mu kkooti enkulu ng’agoberera biragiro bya ssabawaabi wa gavumenti Ebiwandiiko bya sabawaabi biraga nti okunonyereza kwawedde nga kati byonna […]

Eyasobya ku bebi addiziddwaayo e Luzira

Ali Mivule

November 13th, 2015

No comments

Omukazi agambibwa okusobya ku mwana omulenzi ow’emyaka ettaano  gyokka wakuvundira Luzira. Kino kiddiridde omukyala ono okuddizibwa e Luzira Oluvanyuma lw’omuwaabi wa gavumenti Pamela Orogot okutegeeza omulamuzi w’edaala erisooka ku City Hall Moses Nabende nti okunonyereza kukyagenda mu maaso. Christina Nakato ng’ali ku alimanda e Luzira […]

Omu afiiridde mu kabenje

Ali Mivule

November 13th, 2015

No comments

Omu omu afiiridde mu kabenje akagudde wali e Mukono mu Kibuga Ekimotoka ki Fuso kiremereddwa okusiba nekisabaala aba bodaboda okukkakkana ng’omu afudde Akabenje kano kabadde wali kumpi ne wooteri ya Collins Hotel

Abanoonya obululu bakyasaggula

Abanoonya obululu bakyasaggula

Ali Mivule

November 12th, 2015

No comments

Abawenja obululu okukulembera eggwanga lino bakyatalaaga ebitundu ebyenjawulo mu kawefube w’okuwangula emitima gy’abalonzi. Pulezidenti Museveni leero asiibye mu bitundu bye Lango ng’eno gy’asinzidde n’asuubiza nti mu myaka gye etaano egijja, abayizi abawala bakufuna ebikozesebwa nga bali mu nsonga zaabwe ku bwereere Obuzibu obusinze leero ebadde […]

Omuyizi afiiridde mu Bigezo

Omuyizi afiiridde mu Bigezo

Ali Mivule

November 12th, 2015

No comments

Ekikangabwa kibuutikidde abayizi ku somero lya Kasenyi S.S.S Mubende muyizi munabwe bwafiridde mu bigezo bya S.6 ekiwunikiriza abayizi n’abasomesa. Kebigombe Rekyo abadde muyizi mu S.6 ku somero lya Kasenyi S.S.S era nga okusinzira ku mukulu w’esomero lino Kanonya Edward omuyizi ono tabadde nabuzibu bwona wabula […]

Tonku wakuwanikibwa ku kalabba

Tonku wakuwanikibwa ku kalabba

Ali Mivule

November 12th, 2015

No comments

Kkooti ejulirwamu egaanye okusazamu ekibonerezo ky’okutibwa ekyaweebwa   Thomas Nkurungira amanyiddwa nga  Tonku eyatta muganzi we omulambo n’agusuula mu kinya kyakazambi. Omulambo gwa Brenda Karamuzi gwazulibwa abafuuyira ebiwuka nga 30th.Jan.2010 mu zooni ye  Kijjwa e  Bukasa- Muyenga . Abalamuzi abasatu nga bakulembeddwamu  Augustine Nshimye bakkiriziganyizza n’ebyasalibwawo […]