Amawulire

Obunyonyi bwa  Museveni bulumbye  Mbabazi

Obunyonyi bwa Museveni bulumbye Mbabazi

Ali Mivule

November 17th, 2015

No comments

Waliwo obunyonyi bwa NRM obuvudde eri nebugwa mu kisaawe Amama Mbabazi w’alina okukuba olukungaana e Kabarole Obunyonyi buno obubiri bulese abawagizi ba Mbabazi ababadde bategekera omuntu waabwe nga bawunikiridde Bangi bagamba nti kuno kutiisatiisa bantu okubalemesa okugenda ku lukungaana lwe Bino bizze nga bitundu ebisinga, […]

Owa Mubiru gwa leero

Ali Mivule

November 17th, 2015

No comments

Eyali maneja wa SC Villa Chris Mubiru atuuse ku kkooti enkulu okujulira ku kibonerezo ky’okusibwa  emyaka 10 lwamusango gwakusiyaga mwana atanetuuka. Mubiru asuubirwa ali  mu maaso g’omulamuzi  Albert Rugadya Atwoki. Mubiru y’asibwa emyaka 10 mu September w’omwaka gino oluvnyuma lw’omulamuzi  wa kkooti ya Buganda Road […]

Kkampuni ziggaddwa

Ali Mivule

November 17th, 2015

No comments

Minisitule y’ekikula ky’abantu yakaggala ofiisi 17 wano mu Kampala lwakugaana kugondera mateeka ga butebenkevu ku mirimu. Etteeka likirambika bulungi nti ebifo bino birina okubaaka emiryango abantu webayinza okuddukira nga omuliro gukutte wamu n’abalema webalina okuyita. Akulira ebikwekweto mu minisitule eno David Atwok, ategezezza nga bwebazze […]

Omuliro gukutte ekizimbe kya IPS

Ali Mivule

November 16th, 2015

No comments

Omuliro gukutte ekizimbe kya IPS ku luguudo okuli palamenti Omuliro guno gutandikidde ku mwaliro gw’okusatu nga kuno kwekuli wofiisi za kkampuni ya yinsuwa eya Jubilee. Poliisi enziinyamooto etuuse ng’alwanagana n’omuliro guno

Omu attiddwa nga bakwata ababbi

Ali Mivule

November 16th, 2015

No comments

Omuntu omu afiriddewo n’abalala basatu nebaweebwa ebitanda polisii bw’ebadde erwanagana n’abateberezebwa okuba ababbi b’emotoka. Afudde ategerekeseeko lya  Swalleh nga n’omulambo gwe gukyali Mulago. Abalala bategerekese nga Innocent Ocheng,Ivan n’omulala abadde tanategerekeka. Bano okubwa amasasi basangiddwa n’emmotoka kika kya Premio gyebabadde babbye okuva e Namboole ku […]

Ebirabo bizze eri abalwanyisa enguzi

Ali Mivule

November 16th, 2015

No comments

Abali mu lutalo ku nguzi bataddewo ebirabo eri abo abananywa mu banaabwe akendo mu kulwanyisa enguzi. Akulira ekibiina kya Transparency International Peter Wandera agamba nti ensonga zebagenda okussaako essira kwekuli okuwa embalirira, okukola mu bweruufu, obwesimbu n’ekitiibwa Wandera agamba nti omuntu asinze wakulondebwa okuyita ku […]

24 baafa ssabbiiti ewedde

Ali Mivule

November 16th, 2015

No comments

Abantu 24 beebattibwa mu ggwanga mu wiiki gyetukubye emabega Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agambye nti abasinze okufa bakubiddwa masanyalaze mu nkuba eno etonnya obutasalako ate abalala bafiira mu bukubagano mu maka. Enanga agambye nti amawulire g’ennaku agasinga gaava Kibaale ng’omusajja ategerekese nga Anatoli Tugume […]

Poliisi egaanye abafulumya ebivudde mu kulonda

Ali Mivule

November 16th, 2015

No comments

Poliisi egamba nti ssiyakukkiriza Muntu yenna kufulumya bivudde mu kulonda kwa 2016 Poliisi egambye nti efunye amawulire okuva mu bibiina by’obwa nnakyeewa nti bitegeka okukungaanya ebivudde mu bifo ebitali bimu mu kalulu ka 2016 Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti eby’abantu abatali bamu okufulumya […]

UPC ssi ya NRM- Akena

Ali Mivule

November 16th, 2015

No comments

Akulira ekibiina kya UPC Jimmy Akena agamba nti ekibiina kye tekirina mukago gwonna gwekyakoze ne gavumenti. Akena bw’abadde ayogerako eri bannamawulire agambye nti okusisinkana pulezidenti tekitegeeza kumwegattako nga basobola okwogera ku nsonga eziwera. Ono agambye nti ekibiina kya UPC tekisobola kwegatta ku NRM okutuuka ng’olukiiko […]

Eyali Meeya yesambye FDC

Ali Mivule

November 16th, 2015

No comments

Eyaliko meeya we Hoima Francis Atugonza awandisiddwa okuddamu okwesimbawo ku kifo kyekimu kyokka nga tajjidde mu kibiina kye ekya FDC. Ono yesimbyeewo nga tasinzidde mu kibiina kyonna. Atugonza akakasiddwa akulira eby’okulonda mu disitulikiti ye Hoima Douglas Masiko. Atugonza yawangulwa munna NRM Grace Mugasa ku bwa […]